SSENTEBE w'ekibiina omwegattira abalimi ekya Buyende district Farmers Association , afiiridde mu kabenje.
Moses Samanya, nga yabadde akulira abalimi mu disitulikiti y'e Buyende, afiiridde mu kabenje akagudde e Kasambira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli, pikipiki nnamba UFC 423B Yamaha kw'abadde atambulira, bw'etomedde mmotoka ya takisi nnamba UBH 068 J ebadde eyimiridde.
Ttakisi gye yatomedde.
Kigambibwa nti atwaliddwa mu ddwaaliro e Kamuli oluvannyuma lw'okufuna ebiwundu eby'amaanyi kyokka n'afa nga yaakatuusibwayo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Micheal Kasadha, asabye abavuzi b'ebidduka okwongera okuvuga n'obwegendereza okwewala obubenje.
Bodaboda eyaweddewo!