CHAN 2024 : Ebyokwerinda bimyumyuddwa e Namboole mu gwa Uganda ne Senegal

Abaserikale baakussibwa ku nguudo ezigenda , n'okuva ku kisaawe ky'e Namboole era ng'enguudo ezimu zijja kuba nzigale eri abavuzi b'ebidduka okutandika n'essaawa kkumi ez'olweggulo.

CHAN 2024 : Ebyokwerinda bimyumyuddwa e Namboole mu gwa Uganda ne Senegal
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #CHAN 2024 #Uganda

POLIISI eyongedde okunyweza eby'okwerinda ku kisaawe e Namboole n'enguudo ezeetooleddewo nga twetegekera omupiira gwa Uganda ne Senegal enkya.

Abaserikale baakussibwa ku nguudo ezigenda , n'okuva ku kisaawe ky'e Namboole era ng'enguudo ezimu zijja kuba nzigale eri abavuzi b'ebidduka okutandika n'essaawa kkumi ez'olweggulo.

Ttiimu ya Uganda Cranes kabiiriti.

Ttiimu ya Uganda Cranes kabiiriti.

Abantu ab'enjawulo bakubiriziddwa okwetegekera engendo zaabwe nga bukyali, ate n'abawagizi ne babasaba okutuuka ku kisaawe nga bukyali , kubanga emiryango gyakuggulwawo mu ttuntu.

Abawagizi abatalina tikiti, poliisi ebalabudde , obuteetantala kugenda Namboole kubanga tebagenda kuzitundirayo ku kisaawe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, awadde amagezi abawagizi abalina obukosefu ku mibiri,  okubeera abeegendereza ennyo nga bayingira ekisaawe obutakosebwa olw'essanyu eringi oba ennaku ennyingi.