Poliisi ya CPS mu Kampala ng'eri wamu ne ya Jinja Rd, bakoze kikwekweto eri abamenyi b'amateeka ne bakwata Mwenda.
Kikoleddwa ku Shell Nakawa, Punjab, Lufula, Wampeewo ne Mukwano eri abavubuka abaludde nga basikambula sipeeya w'e mmotoka mu jjaamu ne bamutwala okumutunda.
Basinga kubba bintu bya Noah, Benz ne Harriers era okwemulugunya kuludde okuva mu bantu abenjawulo nga bavuga ebidduka ku nguudo okuli owe Mukwano, Kitgum house , Centenary park ne Nakawa mu Kampala.
Abantu 9 abakwatiddwa, kuliko Dan Makana, Stephen Kajubi, Stephen Owundo, Ibra Asiimwe, Isaac Kageni, Baba, Izo Bindusa, Dan ne Ibra.
Abakwatiddwa, bakkirizza okwenyigira mu bunyazi buno era bayambako poliisi okuyigga bannaabwe abalala okuli Musiraamu, Juice ( Bugolobi) n'abalala.
Amyuka omwogezi omwogezi wa poliisi Mu Kampala, Luke Oweyesigyire agambye nti baliko webatuuse ku bunyazi buno.