NG’EMU ku nkola y’okutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu ggwanga, Gavumenti etegeezezzza nga bwekomezzaawo bbanka y’abalimi n’abalunzi egenda okubasobozesa okwewola ssente ezitaliimu magoba mangi ssaako obukwakkulizo obukakali.
Omuteesiteesi omukulu mu ofiisi ya pulezidenti, Hajj Yunus Kakande ategeezezza nti okutandika n’omwaka ogujja ekizimbe kya bbanka eno kigenda kuba kiwedde okuzimbibwa olwo abalimi n’abalunzi beyagalire mumirimu gyabwe.
“Abalimi bangi babadde bakaaba nti bbanka zebagendamu zibabinika amagoba mangi nga nezimu zibatekako obukwakkulizo obw’amaanyi ekiretedde nabamu okufirizibwa ennyo.” Haaj Kakande bweyayongeddeko.

Hajji Yunus Kakande ngalambula abalimi
Yasinzidde Masuliita mu disitulikiti ye Wakiso bweyabadda alambulula ku biki Gavumenti byetuseeko mu manifesito yaayo eya 2021 naddala mu kisaawe ky’ebyobulimi n’obulunzi ssaako ne byo byegenda okutekamu amaanyi mukisanja ekiddako.
Kakande era yagumizza abalimi nga Gavumenti bweyafunye musigansimbi agenda okukola ebigimusa ebibadde bitawanya ennyo abalimi abamu nebatuuka n’okugula ebitali kumutindo ate ebyonoonye ennimiro zaabwe.
Yagambye nti musigansimbi ono ava mu ggwanga lya Tanzania era Gavumenti yamalirizza dda okumuwa ettaka mubitundu bye Kampiringisa gyagenda okukolera ebigimusa ng’akozesa obusa bw’ebisolo nagattako ebirungo ebirara.
Yakubirizza abantu okwongera amaanyi mu by’obulimi nategeeza nti n’akatale Gavumenti kati ekagaziyizza naddala mu mawanga agatulilanye okuli Rwanda, Kenya, Congo ssaako ensi endala.
Yayongeddeko nti Gavumenti ya NRM mu manifesito yaayo eya 2021, yatunulira nnyo ensonga y’okugoba obwavu ssaako ebbula ly’emirimu nga mu kino yakubiriza nnyo abantu okwettanira eby’obulimi n’obulunzi.

Hajji Kakande ng'ambula abalimi
Ye munna NRM e Masuliita Ssalongo Muwada Namwanja, yasabye Gavumenti mukisanja ekiddako, etunulire nnyo eky’okutondawo amakolero kiyambe abavubuka okubaako bye bakola n’okwongera ku nnyingiza yaabwe.
Muwada yagambye nti ekitundu nga Masuliita kirina abavubuka bangi abatalina mirimu ng’abasinga bazzukulu babalwanyi abatasobodde kumalako kusoma, ate nga bangi balina amaanyi agakola emirimu egy’enjawulo.
Yannyonnyodde nti alina abavubuka beyakunganyako nebekolamu ekibiina nga bano bwewabaawo ayagala okubalimira, oba okukola omulimu omulala gwonna abapangisa nabawaayo akassente akasobola okubabezaawo.
“Twalaba ng’abavubuka bangi mukitundu kyaffe tebalina mirimu, kyokka wadde twakola ekibiina ekibayambako, ssente zebafunamu ntono nga n’emirimu tegibaawo nnyo ate ng’abamu ku bavubuka bano bebawerera bato baabwe.” Muwada bweyayongeddeko.
Yagambye nti kyennyamiza nnyo Gavumenti okuwa bamusigansimbi ebifo nebatekawo amakolero kyokka bannayuganda nebatawebwa mukisa kukolera mu makolero ate nga namakolero tegabunye bitundu bya ggwanga eby’enjawulo