Gavumenti ekomezzaawo bbanka y'abalimi!

NG’EMU ku nkola y’okutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu ggwanga, Gavumenti etegeezezzza nga bw’ekomezzaawo bbanka y’Abalimi n’abalunzi egenda okubasobozesa okwewola ssente ezitaliimu magoba mangi ssaako obukwakkulizo obukakali.

Gavumenti ekomezzaawo bbanka y'abalimi!
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
#Amawulire #Balimi #Bbanka #Gavumenti #Kukomyawo

NG’EMU ku nkola y’okutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu ggwanga, Gavumenti etegeezezzza nga bw’ekomezzaawo bbanka y’Abalimi n’abalunzi egenda okubasobozesa okwewola ssente ezitaliimu magoba mangi ssaako obukwakkulizo obukakali.

 

Omuteesiteesi omukulu mu ofiisi ya pulezidenti, Hajji Yunus Kakande yategeezezza nti okutandika n’omwaka ogujja, ekizimbe kya bbanka eno kigenda kuba kiwedde okuzimbibwa olwo abalimi n’abalunzi beeyagalire mu mirimu gyabwe.

 

“Abalimi bangi babadde bakaaba nti bbanka ze bagendamu zibabinika amagoba mangi nga n’ezimu zibateekako obukwakkulizo obw’amaanyi ekireetedde n’abamu okufiirizibwa ennyo.” Hajji Kakande bwe yayongeddeko.

 

Yasinzidde Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso bwe yabadda alambulula ku biki Gavumenti by’etuseeko mu manifesito yaayo eya 2021 naddala mu kisaawe ky’ebyobulimi n’obulunzi ssaako n’ebyo by’ egenda okuteekamu amaanyi mu kisanja ekiddako.

 

Kakande era yagumizza abalimi nga Gavumenti bwe yafunye musigansimbi agenda okukola ebigimusa ebibadde bitawaanya ennyo abalimi abamu ne batuuka n’okugula ebitali ku mutindo ate ebyonoonye ennimiro zaabwe.

 

Yagambye nti musigansimbi w’e Tanzania era Gavumenti yamalirizza dda okumuwa ettaka mu bitundu bye’ Kampiringisa gy’agenda okukolera ebigimusa ng’akozesa obusa bw’ebisolo n’agattako ebirungo ebirala.

 

Yakubirizza abantu okwongera amaanyi mu by’obulimi n’ategeeza nti n’akatale Gavumenti kati ekagaziyizza naddala mu mawanga agatuliraanye okuli Rwanda, Kenya, Congo ssaako ensi endala.