SSAABAWANDIISI w’ekibiina kya FDC, Nathan Nandala Mafabi ng’ono ye yaweereddwa kkaadi y’ekibiina okuvuganya ku bwapulezidenti ayaniriziddwa mu mizira abantu b’e Mbale, ekibiina kya FDC bwe kibadde kimwanjula gye bali ng’agenda okubakwatira bendera mu butongole.
Nandala Ne Amuriat Nga Bayita Mu Bantu.
Mafabi olugendo lwe yalutandise ku Lwokutaano n’awummulirako mu kibuga Jinja gye yasimbudde ku Lwomukaaga okwolekera Mbale.
Mafabi mu kkubo abantu bazze bakung’aanirako okumubuuzaako wakati mu byokwerinda era mu bifo ebimu poliisi yawaliriziddwa okukuba tear gas okugumbulula abantu.
Mafabi yatuuse Ku kisaawe kya cricket mu kibuga Mbale olukungaana we lwabadde lutegekeddwa abawagizi ne bamwaniriza mu mizira ssaako okumunaanika ekyambalo ky’eddiba.
Abamu ku bakulembeze b’ekibiina kya FDC okwabadde eyeegwanyiza obwaloodimmeeya Ibrahim Kasozi, omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi , Jonathan Ebwalu Soroti (Soroti West), Joan Alobo (Sorot City) n’abalala baasabye abantu b’e Bugihu okulonda Mafabi kuba y’asobola okutereeza ebyenfuna.
Wano Nga Bayisa Ebivvulu.
Pulezidenti w’ekibiina kya FDC Patrick Oboi Amuriat yasekeredde abali balowooza nti ekibiina kigenda kugwa olw’okuba waliwo abakyekutuddeko.
Ono yasekeredde ekibiina gye baddukira olw’obutabeera na busobozi busimbawo muntu ku bwapulezidenti.
Mafabi yasabye bannayuganda okumwesigisa n’ategeeza nti ye tanoonya bugagga. Mafabi yasuubizza okuddaabulula ebyenfuna by’eggwanga n’asuubiza nti buli muntu waakumuweereza awatali kwesigama ku wa gy’ava.
Wano Nga Bamuwa Engabo Ye.