Full figure alumirizza Justine Nameere okuba n'ekyamanyi ku by'okumukuba nga omubbi wa kasimu

Omuyambi wa gavumenti ku nsonga za Ghetto, Jennifer Namutebi Nakangubi amanyiddwa nga Full figure agguddewo omusango gw'okumukuba n'okumunyagako ssente n'essimu.

Full figure alumirizza Justine Nameere okuba n'ekyamanyi ku by'okumukuba nga omubbi wa kasimu
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Jennifer Nakangubi #Full figure #Justine Nameere #Kulwana #NRM #Kololo #Kyadondo rd

Omuyambi wa gavumenti ku nsonga za Ghetto, Jennifer Namutebi Nakangubi amanyiddwa nga Full figure agguddewo omusango gw'okumukuba n'okumunyagako ssente n'essimu.

Nammeere Ne Bba Nsubuga Full figure b'alumiriza.

Nammeere Ne Bba Nsubuga Full figure b'alumiriza.

Alumiriza omuyambi wa Pulezident ku nsonga z'abavubuka Justine Nammeere ne bbaawe, okumukolako effujjo ku Kyadondo rd, mu Kampala, bwe yabadde agenda ku wooteri emu mu lukung’aana lwa Moses Kalangwa .

Agamba nti baamukubye ku Lwokutaano ne bamunyagako emitwalo 50 n'essimu ye nti era nga mu kiseera kino ali mu kufuna obujjanjabi olw'obuvune obwamutuusiddwako.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango agambye nti Full Figure yaggyiddwako sitatimenti n'ekifo we baamukubidde poliisi n'ekituukamu nga mu kiseera kino, bayigga Nameere ne bbaawe, babitebye.

Full figure gwe baakubye.

Full figure gwe baakubye.