Abasibe abaatolose okuva mu kaduukulu ka kkooti poliisi ebayigga!

Poliisi e Mayuge etandise omuyiggo gw'abasibe omusanvu abaatolose okuva mu kaduukulu ka kkooti.

Abasibe abaatolose okuva mu kaduukulu ka kkooti poliisi ebayigga!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kuyigga #Kkooti #Basibe #Kaduukulu #Kutoloka

Poliisi e Mayuge etandise omuyiggo gw'abasibe omusanvu abaatolose okuva mu kaduukulu ka kkooti.

Bino bibadde ku kkooti e Mayuge, abasibe bano bwe babadde batwaliddwayo okuwozesebwa ku misango egy;enjawulo.

Abatolose kuliko Juma Swamakomu, Jamani Erapaasi, Layani Tenywa nga bonna bali ku munsago gw'okumenya n'okubba, Juma Mugoya, Fred Kanene nga bano bombi bali ku gwakusobya ku baana abatannetuuka.

Abalala ye Hussein Isabirye ne Abdul Mukambwe nga bombi babadde Ku misango gya bubbi.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kafaayo, ategeezezza nti mu kiseera ekyo, Omulamuzi n'abakuumi ku kkooti, tebaabaddewo nga baliko ekifo gye babadde bagenze okulambula, nti bano kwe Kumenya ne babomba era babayigga.