Enteekateeka za Ssabasumba Paulo Ssmogerere ez'okuzimba ennyumba Abasaserdooti abakadde n'abalwadde mwebanaawummuliranga zeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw'Abakristu b'omu Vikariyeeti y'e Ntebe okusonda ensimbi za Uganda bukadde 104 muntereeza eya SAAFU.
SAAFU (Ssabasumba Annual Appeal Fund) y’ensawo enzibizi Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala gy’eyeyaambisa okuddukanya essaza, n’okukola pulojekiti ezenjawulo ezigasa abantu bonna, ngateyeesigamye kubuyambi obuva ebweru. Ssente zino ziweebwayo Abakristu mu ngeri eyakyeyagalire, muntereeza eyabuli mwaka.
SAAFU ow’omwaka guno Ssabasumba Ssemogerere y’asalawo akozesebwe okuzimba ennyumba Abasaserdooti abakaddiye, n’abafunye obukosefu mubulamu bwabwe obw’omubiri gyebanaawummuliranga n’okulabirirwa mu ngeri ennungi. Enju eno egenda okuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi za Uganda 20 egenda kuzimbibwa ku ttaka lya Klezia ery’e Bweya, mu Gombolola y’e Ssisa, mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ku Ssande (August 31) okusonda ensimbi za SAAFU mu Vikariyeeti y'e Ntebe lwekwatongozeddwa Ssabasumba Paulo Ssemogerere. Omukolo gw'abadde mu Klezia y'ekigo ky'e Kisubi. Abakristu baasonze obukadde 104. Ssente baaziweeredde mubigo byabwe okwabadde eky’e Nabbingo (obukadde11.5), Buyege (obukadde7), Mpala (obukadde6), Nakawuka (obukadde 4), Bunnamwaya (obukadde 3), Buloba (obukadde 15), Lweza (obukadde 11), Masajja (obukadde10.5), Kibiri (obukadde10), Namasuba (obukadde 2). Ebigo ebirala, okwabadde Kisubi ne Mpala, nabyo byatonye.
Abasista ab’ekibiina ky’Omusamaria Omulungi baawaddeyo emitwalo 50. Babbulaaza ba St. Amans baawaddeyo emitwalo 30. Hon. Charles Matovu y’atonye emitwalo 50. Aba Kampala Archdiocese Pastoral Council ngabakulembeddwamu Ssabakristu Emily Kitto Mwaka nabo baawaddeyo emitwalo 50.
Ssabasumba Ssemogerere yeebazizza nnyo Abakristu olw’onutima omugabi gwebaalaze.
“Kino kyemukoze kimpadde essanyu. mmanyi bulungi okusoomozebwa kwemuyitamu olw’obuzibu bwa ssente. Embeera y’eby’enfuna ssinnungi. Ate mu kiseera kino mweteekerateekera kuzza baana kumasomero. Naye wadde guli gutyo, era ssente muzze nemuzituwa. Tubeebaza nnyo,” Ssemogerere bweyagambye.
Oluvannyuma y’ategeezezza nti enju egenda okuzimbibwa tegenda kugasa Basaserdppti bokka, w’abula n’abantu abalala abayinza okwagala okuwummulirayo, oba okulwalirayo kyokka nga balina okusasulayo kukasente.
Ssabakristu w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Emily Kitto Mwaka n’omukulu Michael Ssebowa nga bano bombi bali ku lukiiko lwa SAAFU baasabye Abakristu okwongera amaanyi mukusonda ensimbi za SAAFU, Ssabasumba asobole okuddukanya obulungi emirimo gy’essaza.
Dayirekita wa SAAFU, Fr. Timothy Lukananso y’ategeezezza nti ssente ezaakakunganyizibwa ziweze obukadde 700.
Engeri y’Okuwaayo
Bw’oba oyagala okutona, ssente oyinza okuziteeka mu Centenary Bank,
A/C No: 3100004370
Oyinza n’okukozesa Mobile Money
MTN Mobile Money
Dial: *165*4*4#
Enter Merchant Cod ID: Saafu
Enter payment Ref: Your Parish
Enter: Amount
Enter: Pin Code
AIRTEL MONEY
Dial *185*9#
Merchant Code ID: 4366157
Enter Amount
Enter Payment Ref: Your Parish
Enter Pin Code