ABADIGIZE mu bbaala, bavudde mu mbeera ne bataayiza agambibwa okuba omubbi w'emmundu, ne bamukuba ne bamutta, emmundu ne bagikwasa poliisi.
Bino bibadde ku bbaala eyitibwa Tipsy mu Olyanga Juma cell e Kitgum, omubbi w'emmundu bw'alumbye ekifo ekyo, n’anyaga amasimu ne ssente okuva ku badigize wakati mu kubatiisatiisa.
Kigambibwa nti, basobodde okumufumbiikiriza ne bamukuba ne bamutta, omulambo gwe ne baguteekera omuliro nti n'oluvannyuma ne bayita poliisi, gye bakwasizza emmundu omubadde amasasi 21.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, annyonnyodde nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso okuzuula ebikwata ku musajja ono.