ABAVUBI ne baddereeva b’amaato ku mwalo gw’e Katosi bali mu kusattira olw’omusolo gavumenti gw’ebasoloozaako, gwe bagamba nti gusukkiridde obungi era bangi ku bannaabwe gubalemesezza okukola.
Embeera eno era bagamba nti evuddeko obubenje okweyongera ku nnyanja, olw’ebikozesebwa okutangira obubenje ku mazzi okubeera ku buseere, olw’omusolo omungi gwe babiggyako.
Bino baabyogeredde mu lukiiko olwetabiddwaamu abavubi, abakola amaato, abagoba b’amaato, n’abalala abakolera ku nnyanja, nga lwayitiddwa minisitule y’ebyentambula, okubaggyamu ebirowoozo ku ngeri y’okukendeeza obubenje ku nnyanja. Olukiiko lwatudde ku Molly Guest House e Katosi mu Disitulikiti y’e Mukono.
Omugoba w’amaato, Maliko Muyigye, ng’akolera ku myalo egy’enjawulo okuli Katosi, Kkoome, okutuuka e Kalangala yagambye nti minisitule y’ebyentambula n’ey’obuvubi omusolo gwe babawoozaako okutambuza emirimu ku nnyanja gusukkiridde obungi, ate ne bye bakozesa ku mazzi ebirala ng’obujaketi obutaasa obulamu singa eryato liba lifunye obuzibu wakati mu mazzi, yingini z’amaato, n’ebirala nabyo babiwoozaako omusolo mungi, ekiremesezza abantu okubigula, ne kyongera n’obubenje ku mazzi.
EMISOLO EGITABUDDE ABAVUBI
Muyigye yannyonnyodde nti buli mwaka basasula emitwalo 45 mu minisitule y’ebyentambula okukuwa olukusa okukolera ku nnyanja, kwossa emitwalo 25 gye basasula okuwa eryato olukusa okutambuza ebyennyanja.
Kuno kwogatta emitwalo 15 ze basasula mu minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi, okukuwa olukusa okuvuba ebyennyanja. Bwomala ate ng’osasula emitwalo mukaaga (60,000/-) ez’omusolo gwa Town Council y’e Katosi, nga za buli mwaka. Ate ab’eggombolola y’e Kkoome nabo babasasuza emitwalo 20 buli mwaka nga zaakutikka n’okutikkula emigugu n’abasaabaze. Ate bwomala ng’osasula endala emitwalo 22 ez’embaawo z’omuti gwa Makiba oguva e Congo, nga guno gwe muti gavumenti gwe yakkiriza okubajjamu amaato.
Maliko annyonnyola nti emitwalo 22 zisoloozebwa ku buli lubaawo, era abasuubuzi baazo bazitunda emitwalo 25 buli lubaawo, ng’ebbeeyi eno eri waggulu nnyo, ekiviiriddeko bannannyini maato okukozesa emiti emirala eminafu ekivuddeko obubenje okweyongera.
Abagoba b’amaato era beekokkodde omusolo ogususse ku yingini z’amaato, ekibalemesezza okubeera ne yingini ebbiri eziragirwa mu mateeka, nga singa emu efa, bateekako endala mu bwangu ng’eryato terinnaba kubbira. Mu kiseera kino yingini etandikirwako ya bukadde 25!
Brian Musinguzi okuva mu Minisitule y’ebyentambula yagambye nti waliwo etteeka erya Inland Water Transport Act, 2021, lye baagala okutandika okuteekesa mu nkola, nga kye baavudde batandika n’okwebuuza ku bantu abali mu mulimu guno, okulaba engeri gye liyinza okuteekebwa mu nkola nga tebanyigirizza bavubi.
Ssentebbe wa LC1 owa Kizaalabuganda omuli omwalo gw’e Katosi, Davis Ssegirinnya Ssebbowa, yasabye gavumenti okusikiriza ba yinvesita abakola obujaketi bw’oku mazzi okujja mu Uganda babukolere wano, ebbeeyi esobole okuba wansi