Dr Sudhir akulembeddemu kampeyini y'okutuusa Uganda mu "middle Income status"

OLUVANNYUMA lwa nnaggagga Sudhir Ruparelia okubbula mu mutabani we omugenzi Rajiv Ruparelia ekizimbe galikwoleka kyeyatuumye RR Pearl Tower ekisangibwa e Mulago awaali ekitebe ky'amagye ekikessi ekya CMI, ate asabuukuludde ekizimbe ekirala kyatuumye one Ten Apartment Tower ekiriko emyaliriro egisukka mu 15

Sudhir Ruperelia mu katono ate mu kinene ky'ekizimbe ekipya kyali mu kuzimba
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

OLUVANNYUMA lwa nnaggagga Sudhir Ruparelia okubbula mu mutabani we omugenzi Rajiv Ruparelia ekizimbe galikwoleka kyeyatuumye RR Pearl Tower ekisangibwa e Mulago awaali ekitebe ky'amagye ekikessi ekya CMI, ate asabuukuludde ekizimbe ekirala kyatuumye one Ten Apartment Tower ekiriko emyaliriro egisukka mu 15. 

One Ten apartment Tower

One Ten apartment Tower

Ekizimbe kino kisangibwa ku Prince Charles's Drive e Kololo era nga kye kimu ku bizimbe eby'ongedde okulabisa ekibuga Kampala  obulungi. 

Sudhir ategeezezza nti ekizimbe bwekinaaba kiwedde kigenda okuwa Bannayugada abasukka mu 1000 emirimu olwa business ez'enjawulo ezigenda okubeera ku kizimbe kino.

One Ten apartment Tower

One Ten apartment Tower

Abagagga b'omu Kampala ensanji zino batadde amaanyi mu kuzimba ebizimbe ebiri ku mutindo gw'ensi yonna ekiraga nti ekisuubizo pulezidenti Museveni eky'okutwala Uganda mu "Middle Income status" kijja kuba kituukiddwako mu 2030.