Ebyabadde mu kafubo k’abasuubuzi abaggadde ebizimbe n’omugagga Kitandwe

OMUGAGGA Tom Kitandwe, apondoose naggyawo ssente z’obupangisa z’abadde yayongezza ku bizimbe bye. Kino kiddiridde ensisinkano eyayitiddwa omubaka wa pulezidenti mu Kampala,Umar Lule Mawiya n’ekigendererwa ky’okutabaganya Kitandwe n’abasuubuzi abakolera ku bizimbe bye okuli; Gazaland, Grandcorner ne Galiraya, abaabadde baggadde ebizimbe okumala ennaku nnya nga bawakanya okubongeza ssente z’obupangisa .

Ebyabadde mu kafubo k’abasuubuzi abaggadde ebizimbe n’omugagga Kitandwe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUGAGGA Tom Kitandwe, apondoose naggyawo ssente z’obupangisa z’abadde yayongezza ku bizimbe bye. Kino kiddiridde ensisinkano eyayitiddwa omubaka wa pulezidenti mu Kampala,Umar Lule Mawiya n’ekigendererwa ky’okutabaganya Kitandwe n’abasuubuzi abakolera ku bizimbe bye okuli; Gazaland, Grandcorner ne Galiraya, abaabadde baggadde ebizimbe okumala ennaku nnya nga bawakanya okubongeza ssente z’obupangisa .
Mu lukiiko olw’ebbugumu olwatuuziddwa ku ofiisi ya Mawiya e Nakasero era nga ye yalukubirizza, abasuubuzi baanokoddeyo ebintu ebyenjawulo ebibasoomooza omuli;  eky’okubongeza ssente z’obupangisa mu ngeri etabalumirirwa, okubasasuza ssente za kasasiro, kaabuyonjo n’amasannyalaze ssaako enneeyisa embi eyabaddukanya ebizimbe bye.
“Tulina akazito akaviira ddala ku ssente empitirivu ze tusasula mu bizimbe bino ng’ate embeera y’ebyenfuna ekalubye nnyo ensangi zino. Noolwekyo tetuli beetegefu kusasula ssente zaatwongezeddwa olw’embeera mwetuli,” bwatyo Robert Tumuherwe Kabushenga, omu ku bakulembeze b’abasuubuzi bwe yategeezeza mu lukiiko luno.
Abasuubuzi era baalaze Kitandwe nti abadde yaakamala okubongeza ssente z’obupangisa nga si kyabwenkanya okuddamu okubongeza mu mwaka gwe gumu.
Abasuubuzi era baasabye kasasiro adde mu mikono gya kkampuni ya Nabugabo nga balumiriza nti ssente ezibaggyibwaako eza buli mwezi zibamenya. Baamusabye  abateerewo enkola y’amasannyalaze eya YAKA nga pulezidenti bwe yalagira gye buvuddeko kibataase obutitimbe bwa ssente z’amasannyalaze ze basasula buli mwezi.
Baawakanyizza n’enkola y’okusasuza abasuubuzi ssente za “Goodwill” nga bagamba si kya bwenkanya. Waliwo omukyala eyalumirizza omu ku bamaneja okumuggyako obukadde 48 okumuwa edduuka nga yeekwasa nti za “Goodwill”.
Omugagga Kitandwe oluvannyuma lw’okuwuliriza ebiruma abapangisa be, yasazeewo wassibwewo akakiiko okunoonyereza ku nsonga ze baamuloopedde kuba ezisinga abadde tazimanyi.
Akakiiko kaakutuulwako abakulembeze b’abasuubuzi okuli; Edward Ntale, ssentebe wa UATEA ne Francis Ddamulira owa KAAFO, abasuubuzi abaakiikiriddwa Robert Tumuherwe ne Omega Nansubuga ,oludda lwa landiroodi olwakulembeddwa Jjemba Kitandwe n’abakulembeze b’ebyokwerinda okuli aduumira poliisi ya CPS, Abraham Tukundane n’amyuka RDC wa Kampala, Shafik Nsubuga. Akakiiko kaaweereddwa omwezi guno okuvaayo ne lipooti ku nsonga ezaanokoddwaayo. Enjuyi zombi era zakkaanyizza ku ky’obutaddamu kwongeza ssente za bupangisa mwaka guno, era ne bakkaanya nti ne bw’anaaba waakwongeza omwaka ogujja ssente tezirina kusukka bitundu 10 ku 100 ebyalagirwa