Bobi, owa UPC, CP bazzizzaayo empapula

PULEZIDENTI w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) azzizzaayo emikono gy’abantu abamusemba okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2026 n’awera nti okusinziira ku buwagizi bw’alabye mu bantu, ensolo ku kizigo kweri.

Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya (wakati) ng’akwasibwa ebbaluwa oluvannyuma lw’okuzzaayo empapula.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) azzizzaayo emikono gy’abantu abamusemba okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2026 n’awera nti okusinziira ku buwagizi bw’alabye mu bantu, ensolo ku kizigo kweri.

Kyagulanyi ku kakiiko ’ebyokulonda akiikiriddwa Ssaabawandiisi
w’ekibiina, David Lewis Rubongoya ne bannakibiina abalala.

Emikono bagikwasizza abakungu b’akakiiko k’ebyokulonda basobole okukakasa nti abamusemba basaanidde.
Nga yaakamala okuwaayo emikono, Rubongoya yagambye nti omulimu gw’okukung’aanya emikono gino tegubadde mwangu kuba mu disitulikiti ezimu abantu
gye baafunanga okutiisibwatiisibwa ng’abakulembeze baayo tebaagala basembe Kyagulanyi kwesimbawo ku bwapulezidenti.

Yagambye nti wadde akakiiko kaagala emikono gy’abantu 100 okuva mu disitulikiti 98 ez’eggwanga, naye mu disitulikiti ezimu baafunyeeyo emikono egisobola mu 1,000 nga tebaagala kulekawo muwaatwa gwonna akakiiko gwe kayinza okwekwasa nti emikono tegimala.

Yasiimye abantu bonna abaabawadde emikono okuva mu bitundu eby’enjawulo eby’eggwanga n’ategeeza nti lino ttoffaali ddene lye batadde ku kaweefube NUP gw’eriko ow’okutwala obukulembeze bw’eggwanga.
ABAAKAKOMYAWO EMPAPULA BAWEZE 7
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda, Julius Muchunguzi yategeezezza nti we zaaweredde essaawa 10:00 ez’akawungeezi eggulo nga ku bantu abasukka mu 200 abaatwala empapula ez’okunoonya emikono okwesimbawo ku bwapulezidenti, 7 baabadde bazikomezzaawo. Ku bano kwabaddeko abaakiikiridde ebibiina by’ebyobufuzi 4 ate ng’abasatu babadde beesimbyewo mu bwannamunigina.

Ebibiina byebyobufuzi ebyabadde byakakomyawo empapula kwabaddeko ekya Common Man’s Party nga kyaleeta Mubarak Munyagwa ku bwapulezidenti, ekya UPC ekyaleeta Jummy Akena, Conservative Party eyaleeta Elton Joseph Mabirizi ne NUP abaleeta Kyagulanyi
Ssentamu.