Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus eyongedde ku matabi gaayo mu Ethiopia

EKKANISA 84 zinnyikizza kaweefube w'okunyweza emirembe mu ggwanga lya Ethiopia bwe zeegasse ku Shincheonji Church of Jesus okuva e Korea.

Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus eyongedde ku matabi gaayo mu Ethiopia
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Shincheonji Church of Jesus #Ethiopia

EKKANISA 84 zinnyikizza kaweefube w'okunyweza emirembe mu ggwanga lya Ethiopia bwe zeegasse ku Shincheonji Church of Jesus okuva e Korea.

Ekkanisa zino zisangibwa mu bibuga eby'enjawulo 10 era zikyusizza amannya okuva kw'ago ge zibadde nago ne zifuna erinnya limu erya Shincheonji Church of Jesus.

Kaweefube ono yatandikibwa Paasita Asefa Angeto bwe yagenda e Korea omwaka oguwedde mu lukungaana olwalimu omusomo ogunyweza okwongera okumanya ku ntaputa entuufu eri mu kubikkulirwa nga bye kyawandiikibwa.

Omukolo gw'okwanjula n'okutongoza enteekateeka eno gwabaddewo wiiki ewedde mu Ethiopia. 

Bapaasita 84 ne balangira nti kati bakyusizza enjigiriza yaabwe okutandika okubuulira okubikkulirwa n'emirembe egiri mu ntaputa eno. 

Bano okulangirira kyaddiridde Paasita Asefa okusooka okutalaaga amakanisa agasoba mu 100 ng'abakunga okumwegattako era oluvannyuma 84 ne zikkiriza.

Yabakuutidde nti baleme kukoma ku kukyusa bipande byamannya ga kkanisa wabula emitima gyabwe gikyuke babeere nga kye babuulira ku mumwa ne ku mutima kye kiriko banyweze okubikkulirwa okuggya.

Abava mu lunyiriri lwa Peter mu Ethiopia baalangiridde nti mu kiseera kino Bapaasita 181 bali mu kubangulwa okwongera okutegeera ebikwata ku kubikkulirwa.