EKKANISA 84 zinnyikizza kaweefube w'okunyweza emirembe mu ggwanga lya Ethiopia bwe zeegasse ku Shincheonji Church of Jesus okuva e Korea.
Ekkanisa zino zisangibwa mu bibuga eby'enjawulo 10 era zikyusizza amannya okuva kw'ago ge zibadde nago ne zifuna erinnya limu erya Shincheonji Church of Jesus.

Omukolo gw'okwanjula n'okutongoza enteekateeka eno gwabaddewo wiiki ewedde mu Ethiopia.
Bano okulangirira kyaddiridde Paasita Asefa okusooka okutalaaga amakanisa agasoba mu 100 ng'abakunga okumwegattako era oluvannyuma 84 ne zikkiriza.

Yabakuutidde nti baleme kukoma ku kukyusa bipande byamannya ga kkanisa wabula emitima gyabwe gikyuke babeere nga kye babuulira ku mumwa ne ku mutima kye kiriko banyweze okubikkulirwa okuggya.
Abava mu lunyiriri lwa Peter mu Ethiopia baalangiridde nti mu kiseera kino Bapaasita 181 bali mu kubangulwa okwongera okutegeera ebikwata ku kubikkulirwa.