Agambibwa okubulankanya obukadde 122 ez’amatooke mu lukujjukujju asuze Luzira

MUSAJJAmukulu asindikiddwa mu kabula muliro ku bigambibwa nti yabulankanya obukadde 122 nga zaali za kutunda Matooke.

Agambibwa okubulankanya obukadde 122 ez’amatooke mu lukujjukujju asuze Luzira
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
#Amawulire\Luzira\ #Matooke

MUSAJJAmukulu asindikiddwa mu kabula muliro ku bigambibwa nti yabulankanya obukadde 122 nga zaali za kutunda Matooke.

 

Emmanuel Nzabandora 39, omutuuze w;e Kawuku mu munisipaali ye Ntebe mu disitulikiti y;e Wakiso ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road Alex Niyonzima eyamusomedde omusango gw'okufuna ssente mu lukujjukujju n'agwegaana.

 

Kigambibwa nga September 16 ,2024 ku bbanka ya Exim mu Kampala Nzabandora nabalala abatannaba ku kwatibwa nafuna obukadde 122 mu lukujjukujju okuva ku Shabani Ambakipapi nga talina okumuguza kkooti zamatooke emitwalo 24000 kyataakola

 

Oludda oluwaabi lulaga nti Nzabandora ng'ayita mu kkampuni ye eyitibwa Nzabe Prosper Investments ng'ono yalina okutambuza amatooke agaali gawezaamu kkiro 24000 ne yeebulankanya.

 

Ono yakwatibwa n'aggulwako omusango era mu kusoyezebwa kajjojijjoni w'ebibuuzo n'akkiriza nti kituufu yali yakola endagaano yokutambuza amatooke wamu n'okufuna ssente ezo.

 

Kyokka yageezaako okwewolereza n'ategeeza nga bw'ataatwala ssente mu lukujjukujju wabula nti yali akoze endagaano n'omuwawaabirwa.

 

Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Grace Amy yategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku musango guno bwe kuwedde n'asaba omulamuzi abaweeyo obudde okutegeka abajulizi.

 

Munnamateeka we yasabye obudde obumpimpi okusobola okuleeta abayima ba Nzabandora ku lwensonga nti omulamuzi eyabadde alina okuguba mu mitambo yabadde taliiwo.

 

Yasindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga September 24, 2025 lwe banadaba okweyimirirwa mu maaso g'omulamuzi Winnie Nankya Jatiko.