Zahara, Malende, Ssewannyana, Kawalya, Reigns, Aloysious Mukasa, Mulumba ne Ssembogga nabo  leero NUP ebasunsudde

ABEEGWANYIZA Kaadi ya NUP okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti mu kulonda kwa bonna okujja mu Kampala, Ankole  ne Acholi baakedde kweyiwa ku kitebe kye kibiina okusunsula 

Abamu ku ku beegwanyiza obubaka bwa Palamenti abasunsuddwa ku card ya NUP
By Paul Galiwango
Journalists @New Vision

ABEEGWANYIZA Kaadi ya NUP okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti mu kulonda kwa bonna okujja mu Kampala, Ankole  ne Acholi baakedde kweyiwa ku kitebe kye kibiina okusunsulwa.
Ebbugumu lisinze kweyolekera wakati w'ababiri abegwanyiza tiketi  ku ky'omubaka omukazi owa Kampala okuli aliko Shamim Malende wamu ne sipiika wa KCCA Zaharah Luyirika nga buli luuyi lukakasa buwanguzi.
Abavuganya obwedda buli avaayo okusunsulwa ategeezeza nga e
bibuuzo ebibabuuzibwa bwebatabisanzeemu buzibu bwonna nga okusinga bikwatagana ku kibiina n'ebitundu byebegwanyiza okukiikirira.

Ekifo ebiralala ebiriko vvaawo mpitewo kye kya Kawempe South, Lubaga south, Makindye East ne West.

Kawempe South okuvuganya olwamaanyi kuli wakati wa Fred Nyanzi Ssentamu ne Dr. Loy Ssebagga, wadde nga abalala ye Charles Lubowa, Faisal Ddamulira ne Steven Ssentongo .

Lubaga south okuvuganya okw'amaanyi kuli wakati w'omubaka aliyo kati Aloysius Mukasa Talton Euginia Nassolo wadde nga abalala abavuganya kuliko munnakatemba Obed Lubega amanyiddwa nga Reign, Ronald Musinguzi, Adam Swift Mugga.

Makindye west nga eno abesimbyewo ye mubaka aliko Allan Ssewanyana, David Mu Siri, Farouq Ntege.

Makindye East ng'eno abavuganya ye Ali Nganda Kasirye Mulyannyama, Robert Ssekidde ne Calvin Bakulumpagi, Patience Ayesiga  Kabuye Sulaiman, Amis Kalumbakayondo James, Caroline  Nanvuma, Twaha Opio.

Kawempe North nga eno Mathias Mulumba ne Kenneth Ssenkungubesowoddeyo okuvuganya buto Omubaka Erias Luyimbazi Nalukoola wadde nga mukulonda kw'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North ekyalumy Muhammad Ssegirinya kati omugenzi.

Lubaga North okuvuganya kuli wakati w'omubaka Abubaker Kawalya ne Solomon Ssemwogerere

Kampala central ssabawandiisi w'ekibiina asunsuddwa nga tavuganyiziddwa.

Nakawa West Isaac Nkamwesiga y'avuganya akulira oludda oluvuganya mu palamenti era omwogezi w'ekibiina Joel Ssenyonyi.

Nakawa East omu kubesimbawo era amyuuka omwogezi w'ekibiina Alex Waiswa Mufumbiro Ali mu kkomera ku misango gy'okwetaba ku paleedi etendeka okodyo bwekinnamagye nga Ono avuganyizibwa Kassim Kibirige ne Arnold Ashaba  ne Vianney Muwonge.

Avunaanyizibwa ku kitundu kya Buganda ku kakiiko k'ebyokulonda aka NUP John Mary Ssebuufu yategeezezza nti okuvuganya kwamanyi nnyo okuva eri abesimbyewo era nga bano bonna boleesezza omutindo ogwa'maanyi ekibakakasa nti bakuvaayo n'ababaka abomitindo.

Amyuuka ssentebe wakakiikiko Ivan Ssempijja ategeezezza nti bakufuba okulaba nga n'abo abali mu makomera n'abo bafuna omukisa okussibwa ku minzani nga abalala wabula Ono teyalambuludde bwebagenda kukikolamu.

Ssebuufu yasabye akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga okubeera n'obwetengereze nga kakola emirimu gyako.