Abantu abasatu abagambibwa okubeera emabega w'obubbi bw'emmotoka mu bitundu by'e Luweero, bakwatiddwa

ABANTU abasatu abagambibwa okubeera emabega w'obubbi bw'emmotoka mu bitundu by'e Luweero, bakwatiddwa.

Abantu abasatu abagambibwa okubeera emabega w'obubbi bw'emmotoka mu bitundu by'e Luweero, bakwatiddwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU abasatu abagambibwa okubeera emabega w'obubbi bw'emmotoka mu bitundu by'e Luweero, bakwatiddwa.

Mu ngeri y'emu era waliwo n'omulala Kenneth Kakuru agambibwa okuba nga y'akayimbulwa okuva mu kkomera ku misango gy'egimu, naye ng'ayiggibwa ku by'okwenyigira mu kubba emmotoka.

Abakwatiddwa, kuliko David Kalyesubula 28 agambibwa okuvuga e mmotoka ey'ekika kya G touring Corolla nnamba UAV 770 L eyabbiddwa nga Sept 9 okuva mu maka e Wobulenzi okugituusa e Buwambo gye baagikwatidde.

Abalala kuliko Musa Sentongo 28 ne Goeffrey Kiwanuka 23 ng'ono, kigambibwa nti y'anoonyeza emmotoka eziba zibbiddwa akatale.

Abakwatiddwa era kigambibwa nti , bakkirizza okubba emmotoka endala ey'ekika kya Ipsum nnamba UAN 906J nga Aug 11 okuva e Katikamu ne bagitunda e Bwaise.

Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Tweanamazima, ategeezezza nti okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula abo bonn abalala, abali mu kibinja kino.