Omugole afiiridde ku mbaga

ABAGOLE babadde baakamala okukuba ebirayiro by’okwagalana okutuusa okufa lwe kuli baawula, omugole omukazi n’akutuka mu kkanisa n’afa!

Omugole omukyala ng’atandise okuyongobera mu kkanisa bwe yabadde tannafa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAGOLE babadde baakamala okukuba ebirayiro by’okwagalana okutuusa okufa lwe kuli baawula, omugole omukazi n’akutuka mu kkanisa n’afa!
Baakanze kuwadaawadako ne bamuddusa mu ddwaaliro ne bigaana. Okwanjula kwabaddewo ku Lwakutaano, embaga n’ebeerawo ku Lwomukaaga ate ku Mmande, kwabadde kuziika!
Ekikangabwa eky’engeri eno kibadde kikyaludde okubaawo era kyalese abatuuze b’e  Maddu mu Gomba nga baanaamiridde mu ntiisa.
Abagenyi abayite baabadde balindidde mu maka g’abazadde b’omulenzi ku kyalo Kikonooka we baabadde babategekedde okubagabula. Baafunye ssimu ebika olwo eryabadde essanyu ne gifuuka emiranga n’ebiwoobe n’endongo eyabadde esindogoma
ennyimba ne zikyuka ne bayiwako ez’okukungubaga.
Buli muntu yakutte ku mutwe mu ngeri ey’okwewuunya n’okutya ate abalala nga beebuuza bwe kiyinza okusoboka kubanga omugole baabadde bamulabyeko nga bamuteekateeka nga mulamu katebule.

Omugole eyafudde bwe yabadde agattibwa ne bba Arinaitwe.

Omugole eyafudde bwe yabadde agattibwa ne bba Arinaitwe.


Kyokka ababyanguya wano we baatandikidde okubisala nti lyandiba eddogo kubanga n’enkoko y’omuko eyagabye omugole egggulo limu, ye yasoose okufa ku lunaku lw’okwanjula nga tebanagimukwasa.
Baagambye nti omugole omusajja yabadde alinayo omuwala omulala gwe yali yasuubiza embaga, kyokka aba ffamire ye ne batamusiima, nga ebyabaddewo bateebereza nti byandiba n’akakwate ku mbeera eno. Wabula bino Bukedde teyasobodde kubikakasa.
Bano baajulizza n’ebyabaddewo mu kwanjula nga bagamba nti abako olwatuuse mu maka g’abazadde okwanjulwa omugole omukazi n’azirika olwo ne basooka bamuddusa mu ddwaaliro ng’embeera etabuse.
Bino byabadde ku kyalo Kitwe, mu muluka gw’e Kitwe mu Gombolola y’e Maddu, e Gomba ku Lwokutaano Allan Arinaitwe bwe yabadde asazeewo okufumbiriganwa
ne kabiite we Rachael Masejeso.
ENGERI OMUGOLE GYE YAFUDDE
Enteekateeka z’emikolo zonna zaabadde zikoleddwa ng’okwanjula bwe kuggwa,  enkeera mbaga wadde ng’omugole mukyala embeera ye yabaddeteyeeyagaza, baasazeewo obutayimiriza nteekateeka. Abagole
baakedde kweteekateeka n’emperekeze zaabwe okweyuna ekkanisa y’Abalokole emanyiddwa nga God’s Care esangibwaku kyalo Luvule e Maddu.
Omutambizi omukulu yabadde Bishop Steven Bekunda okuva e Mpigi era ono ye yagasse abagole kyokka embeera ya Masejeso yayongedde okwonooneka amangu ddala nga baakamala omumwambaza empeta. Okusinziira ku baabadde mu kkanisa, Arinaitwe ne Masejeso nga bamaze okukuba ebirayiro by’okwagalana paka okufa lwe kulibaawukanya, baazizzaako okuteeka omukono ku bbaluwa y’obufumbo kyokka ebbaluwa Masejeso yazitaddeko omukono nga bamukwatiridde. Omusumba eyabagasse
yagenze okukomyawo ebbaluwa okuzibakwasa nga Masejeso ayongedde okunafuwa era wano ebyaddiridde teyabitegedde anti ebbaluwa baagimukwasizza bamuwaniridde nga takyasobola nakuyimirira n’ekyaddiridde n’agwa wansi ne bamuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro.
Eyabadde Kalabalaba w’omugole omusajja nga ye Herbert Katongole anyumya nti mu ddwaaliro, omugole baamutaddeko eccupa z’amazzi era we bwakeeredde ku Ssande ng’ebeera ye egenda etereera.
Ate bwe yafunyeemu olungubanguba, baamugyeyo mu ddwaaliro ne bamuzza mu kkanisa okumusabirako era essaala yabadde ekyanyooka omugole n’addamu n’agwa wansi n’afiirawo.
Ye Arinaitwe yagambye nti ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde mukazi we omugenzi kati  yamukubirako essimu n’amugamba nti teyewulira bulungi, awulira ekintu ekimutudde mu kifuba, naye n’amuzzaamu amaanyi nti yafunye eddagala.
Eyabadde omwogezi
w’omukolo guno, Sam Nsereko, yagambye nti kino kyabadde kikangabwa kya maanyi, olw’engeri ebintu gye byabaawo mu bwangu paka omuwala bwe yafudde. Ye ekyasinze okumwewuunyisa y’engeri enkoko gye baaleese nga namu bulungi gye yafudde!