Nabbanja alagidde ab’e Nansana okuwa ensaasaanya ku ssente za Gavumenti

KATIKKIRO wa Uganda, Robina Nabbanja alaalise okutwala ababalirizi b’ebitabo okuva mu ofiisi ye okubalirira ssente ezaweerezebwa mu munisipaali y’e Nansana okukola ku pulojekiti za Gavumenti ez’enjawulo.

Nabbanja bweyabadde e Wakiso.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KATIKKIRO wa Uganda, Robina Nabbanja alaalise okutwala ababalirizi b’ebitabo okuva mu ofiisi ye okubalirira ssente ezaweerezebwa mu munisipaali y’e Nansana okukola ku pulojekiti za Gavumenti ez’enjawulo.
Yasinzidde ku kisaawe kya disitulikiti y’e Wakiso ku Ssande bweyabadde alaga wa Gavumenti weetuuse mu kutuukiriza manifesito ya Pulezidenti Museveni ey’ekisanja kino ekya 2021-2026 ssaako n’okulaga ebikyawagamidde.
Yagambye nti yaweereddwa lipooti eraga ssente bwezibadde zisaasanyizibwa ssaako n’ebintu abakulu ku munisipaali y’e Nansana bye bagamba nti byakolebwa kyokka nga tebiriiyo, nategeeza nti ensonga agenda kuzekwatiramu abali emabega w’okulya ssente bavunaanibwe

.EBIRI MU LIPOOTI YA NANSANA EBYEWUUNYISIZZA NABBANJA;
Lipoota era nti munisipaali ye Nansana erina divisoni 4 era nga ku ssente za PDM, Busukuma yafuna obuwumbi 2 n’obukadde 439, Gombe n’efuna obuwumbi 3 n’obukadde 368, Nabweru n’efuna akawumbi kamu n’obukadde 500 ate Nansana n’efuna akawumbi kamu n’obukadde 853. Awamu Nansana munisipaali yafuna obuwumbi 8 n’obukadde 900.
Wabula Lipoota eraga nti abakyala ebitundu 20 ku 100 bokka be baafuna ssente, abavubuka ebitundu 20.1 baafuna ssente
Ku nguudo, Nansana erina kkilomita 586, wabula lipooti yalaze nti oluguudo lwa Busukuma-Gombe baasaasanya obukadde 200, Busukuma-Naggamba-Kasozi obuwumbi 2, obukadde 234 nti zaakoze omwala ku luguudo lwa Kawanda, Oluguudo lwa Nansana- Wamala-Katooke nti lwatwala obuwumbi 4o kyokka terukolebwa nga.
Obukadde 274 zaakoze omwala ku luguudo lwa Kabuuma, oluguudo lwa Kiryagonja- Kasalirwe-Kasozi-Kabogge lwasaasanya obukadde 163 kyokka abantu baagambye nti binnya byereere.
Okuddabiriza ekitebe kya munisipaali kyabamazeeko obukadde 146, oluguudo lwa Mpanga Church road lwatutte obukadde 300. Kyokka zino zonna abatuuze baategeezezza nti ebinnya bye bikwaniriza.