MINISTER we by'obugaga by'omutakka Hon Sidronius Okaasai Opolot asabye gavumenti okwongera amaanyi mu bavubuka kubanga baamugaso nnyo era neyebaza Total Energies olw'okuwa abavubuka omukisa okusoma kwosa n'okukuguka mu bintu ebyenjawuulo kyagamba nti kirungi nnyo wabula n'akuutira abavuka bano okwettanira.
Ono okwogera bino abadde ku mukolo ogutekekebwa Total Energies ku Sheraton Hotel e Kampala nga balaga ebintu ebituukiddwako mu bitundu by'eggwanga ebyenjawuulo okuli Buliisa wamu Nwoya okulirana Murchison Falls national Park.
Minisita nga bamulaba ebintu bya culture
Ategeezezza nti abantu abasula mu bitundu bino balina okuganyulwa ennyo nga bafuna omukisa okusoma , okubawa emirimu kwosa ne nkolagana ennungi naye nasembayo nga akakasa nti gavumenti yakusigala nga ewagira omulimu ogukolebwa mu Tirenga .
Dr Joseph Kobusheshe okuva mu kitongole kya Petroleum Authourity Uganda agambye nti omulimu gwa mafuta mu Tirenga gusobodde okutukiriza ebintu bingi ebirungi okuli abantu 1000 basobode okuganyurwa mu mirimu egigenda mu maaso mu bitundu bino era nga abantu ababadde bafirwa etakka abasoba mu 400 basobode okuzimbirwa mayumba negabakwasibwa e Buliisa .
Phillippe Groueix akulira Total Energies mu Uganda agambye nti basanyufu nnyo okuba nga bakwasibwa omulimu gw'okusima amafuta mu bitundu bino okuli Buliisa ne Nwoya kyagambye nti kirungi kubanga ebintu bino byongede okukulakulana nga bazimba amalwaliro , okuzimbira abantu bano amayumba kwosa n'okubawamba okufuna emirimu .
Minisita nga bamulambuza
Agenze mumaaso nategeeza nti abantu bangi baganyudwa nga basomesebwa emirimu gyemikono ekibayambye okwetandikirawo emirimu ne balabirira abantu baabwe ate abalala ne babawa emirimu mu kampuni esima amafuta kyagambye nti kirungi era kyakusigala nga kikolebwa mubitundu bino .
Minister assembyeyo nga atongoza ekitabo ekirambika ebimu ku bintu ebikolebwa mu Tirenga era nateekako omukono .