JUSTINE Nammeere yeeyanjudde ku poliisi okusobola okubaako by’annyonnyola ku musango ogwamuggulibwako Jennifer Nakangubi amanyiddwa nga Full Figure ng’amulumiriza okwetaba mu kumukuba n’afuna ebisago n’okumunyagulula.
Nammeere ne Onyango nga baliko bye boogera.
Nammeere okweyanjula ku kitebe kya poliisi ekya Kampala n’emiriraano ekituula ku CPS mu Kampala kyaddiridde poliisi okumuwandikiira nga emulagira yeeyanjule ku bigambibwa nti y’omu ku baakuba Full Figure nga August 30, 2025.
Nammeere nga ye yamuwabizi wa Pulezidenti ku nsonga z’ekitundu ky’e Masaka yatuuse ku poliisi ya CPS ku Lwokusatu ku ssaawa 5:00 ez’okumakya nga awerekeddwako omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi amandiddwa nga Abitex , omuyimbi Catherine Kusasira mu munnamateeka we, Allan Bariyo okuva mu ba Allan & Partners Advocates wamu n’abawagzi be.
Nammeere ne Abitex ku poliisi.
Poliisi yatadde abaserikale baayo ku mulyango oguyingira ku CPS ne bagaana abamu ku bawagizi ba Nammeere abaabadde bambadde obukooti ( Reflector) okuli ebigambo ebiwaana omuntu waabwe okwabadde ‘Nammeere Juu..’
Nammeere yayingidde ekizimbe kya poliisi ya CPS n’agenda ku mwaliro oguli ofiisi za poliisi etwala Kampala n’emiriraano n’asanga abaserikale abamwanirizza okwabadde omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango.
Yasoose kutwalibwa mu ofiisi y’akulira okunoonyereza mu Kampala n’emiriraano D/ACP Moses Taremwa ne basooka beevumba akafubo oluvannyuma n’atwalibwa okukola sitatimenti .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Onyango yagambye nti Nammeere yEeyanjudde ku poliisi nga avunaanibwa ate nga eyeemulugunya ku Full Figure gw’alumiriza nti naye abadde amuvuma.
Yagambye nti oluvannyuma lwa Nammeere naye okwemulugunya poliisi enoonyereza ku misango mu Kampala n’emiriraano yataddewo emmeeza era n’asaba abantu bonna abalina okwemulugunya ku Full Figure ne bamuggulako emisango ne gitatambula bagende basseemu ensonga zaabwe zikolebweko.
Nammeere yatutte akaseera mu ofiisi ng’akola sitatimenti kwebyo ebigambibwa nti y’omu ku baakuba Full Figure n’endala naye mw’avunaanira Fullu Figure okumuvumanga.