BANNANYINI bibanja okuva mu maka agakunukkiriza mu 400 mu ggombolola y’e Kyesiga e Masaka bavuddeyo ne bawanjagira Pulezidenti Museveni okubayamba bwe bamuloopedde nga bwe waliwo abagagga ababagobaganya ku ttaka.
Bano nga bakulembeddwa ssentebe waabwe owa Kasanje bibanja Owners Association Limited Masaka District , Vincent Mugerwa beesitudde ne bagumba ku ofiisi y’ebyettaka mu Kampala nga baagala wakiri Minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr Sam Mayanja abayambe ayingire mu nsonga zaabwe era azituuse ewa Pulezidenti.
Mugerwa yannyonnyodde nti giweze emyaka 5 nga basula ku tebuukye nga babagobaganya ku ttaka, okusaawa emmere yaabwe omuli n’ebirime ng’emmwaanyi.
Yagasseeko nti embeera yeeyongera okusajjuka okuva Minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba bwe yabakyalirako n’ekigendererwa eky’okugonjoola ensonga zaabwe mu 2021.
Balumiriza nti okuva ku olwo abagagga beeyongera
okubatabukira era ne baziimuula n’ebiragiro minisita bye yaleka awadde.
David Muzenze ono nga mulwanirizi wa ddembe era ng’amaze ekiseera ng’alwanirira abantu bano okufuna obwenkanya yagambye nti abantu bano bali mu mbeera mbi era basaana okuyambibwa. Ettaka eryogerwako liri ku bunene bwa yiika 340.