Poliisi e Katwe mu Kampala ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okukkakkana ku muganzi we wamu ne bbebi waabwe ow’emyezi omunaana n’abatta.
Nicholas Kiiza,36, omutuuze mu divizoni y’e Makindye mu Kampala, ye yakwatiddwa ku by’okutta Christine Nuwamanya ne bbebi waabwe eyategeerekese nga – Keisha.
Kiiza Bw'afaanana
Bino byaliwo nga August, 18, 2025 era okuva olwo abadde anoonyezebwa, okutuusa poliisi bwe yamukukunudde mu bitundu by’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi, era n’akkiriza emisango egimuvunaanibwa.
Ku Lwokutaano, Poliisi yatutte Kiiza, mu kkooti y’Omulamuzi Phiona Bairungi e Makindye ne bamusomera emisango ebiri egy’obutemu, wabula n’alagirwa obutabaako ky’addamu kubanga emisango egimuvunaanibwa gya nnaggomola egiwulirwa kkooti enkulu n’asindikibwa mu kkomera e Luzira okutuusa nga October 23, 2025.