EKITONGOLE ekikulira entambula z'ennyonyi mu gwanga ekimanyibwa nga Uganda Civil aviation Authority (UCAA) wamu ne Air serve bajaguza olunaku lwa bawala mu bye nyonyi ( women in aviation) .
Olunaku luno lujaguzibwa ku kitebe Kya UCAA e Ntebe nga kino kikolebwa okusobola okuzzaamu amaanyi abaana abawala nti basobola okuvuga ennyonyi oba okukola emirimu egyekuuma ku bye nnyonyi n'okubalaga nti okukola ku nnyonyi tekitegeeza kuvuga kwoka wabula waliwo emirimu emirala okuli okubala ebitabo , security, okusitula emigugu n'emirimu emirala .
Abamu kubayizi bamasomero agenjawuulo nga basomesebwa kungeri yokwetanira okukola ku nnyonyi
Amyuuka Akulira UCAA Olive Lumonya agambye nti omuwendo gwa bawala oba abakyala abakola mu nnyonyi batono nnyo nga kiva kukutya okukola emirimu egiyitibwa egyabasajja ate abalala abazadde bamanyi nti okusoma omulimu guno kwabeeyi .
Ono agambye nti okusobola okumalawo ekyokugamba nti okusoma ebye nnyonyi bya sente nyingi naye basobodde okusaawo skaala 200 ezigenda okugabanibwa mu Africa okuyamba abawala okusoma ate nti singa omuwala asoma bulungi alina omukisa okuyambibwa okukuguka mu bye nnyonyi .
Robinah Nalumu okuva mu Air serve agambye nti basazeewo okutegeka omusomo guno nga bakunganya abaana abawala okuva mumasomero agenjawuulo basobole okuyamba okumanyisa abawala bano nti basobola okukola ku nnyonyi omulimu gwona sso ssi kuvuga nnyonyi kwoka nolwekyo omusomo guno gwamugaso nnyo era gwakusigala nga gutegekebwa .
Abamu kubakozi boku kisawe kye nnyonyi nga bogerako eli abayizi abawala
Ono ategeezeeza nti abaana abawala tebafunye kumanyisibwa kumala okubazaamu amanyi nti basobola okukola ku nnyonyi ate nakuutira abazadde obutamalamu baana babwe manyi nti tebayinza kukola kunyonyi olwe bula lye Mirimu kyagamba nti sikituufu kubanga emirimu mingi nnyo