Bakutte 7 ku by'okukuba abantu emiggo mu ngeri emenya amateeka

OMUKULU w'ekika ne banne abalala mukaaga, bakwatiddwa ku bigambibwa nti baatwalidde amateeka mu ngalo ne babonereza abantu babiri mu ngeri emenya amateeka.

Bakutte 7 ku by'okukuba abantu emiggo mu ngeri emenya amateeka
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mateeka #Miggo #Bantu

OMUKULU w'ekika ne banne abalala mukaaga, bakwatiddwa ku bigambibwa nti baatwalidde amateeka mu ngalo ne babonereza abantu babiri mu ngeri emenya amateeka.

Bino, bibadde ku kyalo Madiri mu muluka gw'e Buwamaniala mu Ggombolola y'e Busama mu disitulikiti y'e Sironko, poliisi bw'ekutte Musa Watusi ne banne abalala Mukaaga.

Kigambibwa nti Watusi, yatuuzizza olukiiko ne basalawo okubonereza Moses Wodulo 53 nga mulimi ne Sandra Nadunga 24, ow'e Budiri nga bombi baasoose kubambulamu ngoye , ne babakuba kibooko nga bali bukunya.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti kyaddiridde okubalumiriza nti baayise maama waabwe omulogo, ekyanyiizizza ekika , ne basalawo okubakubira mu lujjudde.

Agasseeko nti bagguddwako emisango gy'okutulugunya n'okulumya abantu ne babatusaako n'ebisago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.