MINISTER w'amagana HON Bright Rwamirama akwasiddwa embuzi zoolulyo olulungi nga zimanyibwa nga Jianzhou ezirina amatu amanene okuva mu Gwanga lya China .
Ono agambye nti embuzi zino nnungi nnyo era nti baagala abalunzi bazetanire nnyo naye nti tezireteddwa kusanyaawo lulyo lwa mbuzi lulala wabula kuyambako kwongeza ku muwendo gw'embuzi ezitundibwa ebwelu kwosa ne mu ggwanga.
Embuzi ez'embala ezivudde e China
Embuzi 3 ensajja n'enkazi 6 zituuse mu Uganda okuva e China era nga zibadde zikuumibwa ku National Animal Genetic Resouces centre and Data Bank (NAGRIC &DB) e Ntebe.
Yergalem Taages Beraki akulirira FAO mu Uganda agambye nti okuzazisa embuzi zino kyakuyamba okufuna embuzi zolulyo kwoasa nembuzi eziwangaala ekigenda okuyamba abantu okwongeza ku nyingiza yomumakka , endya enungi.
Embuzi zino ezimanyibwa nga Jianzhuo Big Eared Goat zirina enyama enungi oluvanyuma lw'okuzigata wamu ne Nubian Goats nebafunamu olulyo luno era nga zazuulwa mu mwak 2013 okuva e China ate nga zisobola okuweza Kg 60 ku mwaka gumu.
DR Swidiq Mugerwa okuva mu NARO agambye nti okuleeta embuzi ezolulyo era nti Embuzi Eno esobola okuwa enyama enungi ekiyinza okuyamba abantu okufuna akasente zokuyambako mumaka