ABATUUZE mu ggombola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono batandise okwebuuza ekitta bakkansala abalondebwa okukiikirira eggombolola eno.
Kiddiridde okufa kwa Racheal Nakamaanya nga y’abadde kkansala w’abavubuka akiikirira eggombolola y’e Goma mu ngeri y’ekibwatukira.
Mubuuke yafa mu 2021
Nakamaanya abadde mutuuze w’e Kiwanga nga kigambibwa nti yasangiddwa ku Lwomukaaga mu kisenge ng’abimbye ejjovu.
Abooluganda lwe baategeezezza nti eggulo limu ku Lwokutaano yabadde akaaba omutwe wabula n’afuna ku ddagala n’atereera era beewuunyizza ate enkeera okumusanga ng’ataawa.
Baamuddusizza mu ddwaaliro lya Happy Hour kyokka n’assa omukka ogw’enkomerero nga yaakatuusibwayo.
Nakamaanya, okulondebwa mu kifo kino kyaddirira eyali akiwangudde mu kalulu ka 2021, Shanon Mubuuke okufa mu ngeri etaategeerekeka.
Mubuuke yasangibwa mu kinaabiro ng'abimbye ejjovu mu kamwa ekyalowoozesa abantu nti yali attiddwa buttibwa.
Sipiika w’olukiiko lw’eggombolola y’e Goma, Tonny Bwanika yannyonnyodde nti embeera y’ababiri bano okufa mu ngeri eringa efaanagana yabakanze ne bafuba okuzuula ekituufu ekyavuddeko Nakamaanya okufa.
Yagambye nti baatuukiridde eddwaaliro ly’e Mulago omulambo gye gwatwaliddwa okwekebejjebwa era lipoota eyabaweereddwa abasawo yalaze nti omugenzi yabadde n’olubuto olwagenze mu nseke ne zaabika omusaayi ne gusigala munda mu mubiri (internal bleeding) nga kye kyamusse.
Omugenzi w’afiiridde nga yaakaweebwa kkaadi ku kifo kya kkansala omukyala akiikirira Goma ku disitulikiti e Mukono era ng’abantu ab’enjawulo baamwogeddeko nga bw’abadde omukulembeze ateerya ntama mu kulwanirira abavubuka okusitula embeera zaabwe.
Omulala eyafa mu nfa ey’entiisa ye yali kkansala omukyala ku lukiiko lwa munisipaali y’e Mukono, Reginah Ndagire ng’ono ye kigambibwa nti yazuulibwa oluvannyuma lw’ennaku ssatu bwe yattibwa n’aggalirwa mu muzigo gwe.