Omusawo ku ddwaliro lya Gavumenti e Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso akkakkanye ku abadde amubanja ssente emitwalo 5 n’amuyiira amazzi agookya agamuwadde ebisago eby’amaanyi ku mubiri.
Rose Nabukeera ng’akolera ku ddwaliro lya Namayumba Health Centre IV ye yayiiridde Melon Kannyana olwegye lw’amazzi ku mubiri oluvannyuma lw’okumubanja ssente z’azze amuwaamu amata g’abaana be.
Kannyana Bw'afaanan Mu Mugongo.
Okusinziira ku Kannyana, agamba nti aludde ng’awa Nabukeera ekikopo ky’amata n’akagaati kyokka n’amusuubiza nti agenda kumusasula bw’aliba afunye ssente, nga n’ekyaddiridde kumutuusaako bulabe.
“Ssente zange ekituufu zibadde ziruddeyo nnyo naye nga buli musawo lwe nzimubanja tazimpa, okutuusa lwe nnazzeemu okumubanja n’alekanira waggulu nga bw’atagenda kuzimpa era ekyaddiridde kunjiira mazzi gookya nga ntambula byange.” Kannyana bw’ayongerako.
Kannyana mubulumi obungi, yagambye nti waliwo n’omwana wa Nabukeera gwe yawa amata ng’akyali muto kyokka atuuse kuweza myaka 2 nga tamusasula ssente ze era yeewunya okuba nga yamusasudde kino.
Yagambye nti yatuuse ku ddwaliro e Namayumba okubategeeza ku nsonga eziguddewo ssaako n’okulaba ng’afuna obujjanjabi kyokka abasawo bey asanzewo baamugambye nti bo tebakola ku wiikendi era ne bamusaba okunoonyako obujjanjabi awalala.
Omuliro We Gwayokezza.
Kannyana agambye yazzeeyo ku Mmande okufuna ebbaluwa y’omusawo, kyokka ne bamusaba ssente emitwalo 20 kyokka agenda okugitwala ku poliisi e Namayumba nga bamutegeeza nti ebbaluwa nfu, era ono yagenze Busunju gy eyafuna ebbaluwa gye baateeka ku ffayiro.
Ono yalombozze obulumi bw’ayitamu nga buli kiseera awulira ebbugumu mu mubiri ssaako obulumi obw’amaanyi, kyokka yeewunya okulaba nga n’akulira eddwaliro bwe yagezezzaako okumunoonya okufuna obuyambi, ate yamwekwese bwekwesi.
Poliisi y’e Namayumba yakutte Nabukeera era n’emuggalira mu kaduukulu kaayo, kyokka ono bwe yamwongeddeyo e Kakiri, baamuwadde akakalu ka poliii n’agenda kyokka nti nga ye Kannyana taliiwo.
“Omuserikale e Kakiri yantegeezezza nti baafunye essimu okuva ku ddwaliro e Namayumba ng’eragira okuta Nabukeera, nti era ne yeeyama okusasula obukadde 2 zinzijanjabe, kyokka bino babikola byonna nga sirina kye mmanyi.” Kannyana bwe yayongeddeko.
Kannyana yagambye nti yabadde akyalaba bw’atambuza emisango gye, ate mu nnaku 2 kwe kuwulira nti ne kkooti y’e Kakiri baatwalayo fayiro era nti Nabukeera baamutadde ku kakalu ka kkooti.
Agamba nti bino byonna byakoleddewa nga tebamutegezezzaako wadde, nga n’ekisinga okumuluma omusawo yakomyewo ku ddwaliro akola era yewaana nti tewali (Kannyana) kyagenda kumukola kuba ye mukozi wa Gavumenti.
Omu ku basawo abakulira ebitongole ku ddwaliro e Namayumba, Milly Nammembo, yategeezezza nti ensonga za Kannyana tebazimanyiiko era nti tabatuukirirangako ku ddwaliro kubaako ky’abategeeza nti ayokeddwa.
Yagambye nti eby’okubanja ssente biri wakati waabwe nga ddyo eddwaliro teririna buyinza bubanja musawo ssente kuba endagaano zaabwe baazikola babiri ate nga ziri wabweru wa ddwaliro.
Ye akola ng’akulira eby’obulamu mu kiseera kino mu disitulikiti ye Wakiso, David Ssekaboga bwe yabuziddwa ensonga ky’azimanyiiko, yabuzizza Bukedde nti “Amazzi yagamuyiridde ali ku ddwaliro oba? Oluvannyuma n’afuluma ofiisi n’agiturekamu.