MUSEVENI abaganyulwa ku pulogulamu ya State house eya Youth Wealth Creation beeyamye okumuyiggira akalulu n’okukakuuma okakasa nti addamu okwata enkasi.
ABANTU abakola emirimu gya wansi abaganyuddwa mu pulogulamu ya State House eya Youth Wealth Creation baweze okuwa pulezidenti Musevini obuwagizi nga bamulonda n’okumuyiggira akalulu bakakase nti addamu okuwangula okulembera eggwanga lyattu Uganda.

Serena Malutia essanyu limukaabizza ng'anyonyola embeera ye bweyakyuuka oluvanyuma lw'okuwebwa ekyalini kwatungira awaka we
Bano basangiddwa mu bitundu okuli; Kireka, Luzira, Banda Kasokoso, Mutungo nga bakola emirimu ng’okutunga, okusiika chapati, okusiika emberenge, chipusi ne saluuni.
Obweyamu bwabwe babutegeezezza omukwanaganya wa pulogulamu eno omukungu okuva mu maka g’obwa pulezidenti Faizal Ndase, bwabadde ezzeeyo mu bitundu gye bakolera okubalambula okulaba engeri gye bakozesesaamu ebintu ebyabaweebwa.
Okuva mu mwaka gwa 2022, amaka g’Obwapulezidenti nga gayita mu agavunaanyizibwaako Jane Barekye gazze gakwasizaako abantu abakola obulimu bwa wansi nga bongera kapito mu bizinensi zabwe okuyita mu kubawa ebikozesebwa.
Era abasoba mu 1,700 okuva mu munisipaali za Kampala etaano okuli Lubaga, Kawempe, Nakawa, Makindye ne Kampala Central bebaakaganyulwa nga baweebwa ebintu nga engaano, ebyalaani, obumonde, dulaya za saluuni, butto n’obuuma obusiika emberenge.

Jovia Kyasimire yafuna akuuma ke mberenge ng'ali ku muddala gwe kwakolera e Sailand Zoni e Kasokoso.
Kati leero omukwanaganya wa pulogulamu Faizal Ndase atandise eddimu ly’okugenda ng’alondola abantu bonna abaaganyulwa okulaba bwe bayimiridde mu nsonga z’okukyuusa obulamu bwabwe akakasa nti ekigenderwa kya pulezidenti ekya pulogulamu eno kituukirira.
Bangi ku bano essanyu lyebasangiddwa nalyo lya nsusso nga n’abamu batuuse n’okwooza ku munnye olw’essanyu nga batottola engeri entandiikwa eyabaweebwa gyeyakyusaamu obulamu bwabwe.
Serena Malutia atunga kyalini mu Kiganda zooni e Kasoko ono ayozezza ne ku munye nategeeza nti embeera yali nzibu nnyo naye okuva bweyawebwa ekyalani wakiri kati asobola okubeera ne ssente mu nsawo ng’olunaku asobola okuteraka 10,000/- ng’aguggye ku kyalani.
Mary Suzan Nyachwo, naye omutunzi w’e kyalani agambye nti pulogulamu eno yamujja wala kubanga olunaku lweyafuna ekyalani embeera ye yakyukamu abantu baatandiikirawo okumuwa engoye okubatungira ku kyalo nga bamusasula akasente kwalabirila abaana.

Zam Namirimu akolera mu Agati zooni e Luzira, yafuna obumonde , butto n'akuuma ka Chipusi agamba ebintu byakyuuka , ku dyo ye Ndase omukwanaganya wa pulogulamu eno.
Beeyamye nti tebagenda kukola ku kyakumulonda naye n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okumuyiggira akalulu era bakakuume okukakasa nti addamu okukwata enkasi abawe ebirala ebisingawo.
Ndase ategeezezza nti oluvannyuma lw’okulondoola abantu bano balina enteekateeka y’okubakolamu Sacco mu bitundu byabwe pulezidenti asobole okwongera okubasizaamu ssente bazeewole bayonger okusitula embeera zabwe.
Suzan Kansiime amyuuka ssentebe wa bakyala mu Kireka D, Kasokoso Territory, asiimye wofiisi ya Barye okubasindikira Ndase atuuka ku muntu wa wansi ewatali kusosola mu ddiini na kibiina muntu kyawagira.