Abaserikale ba Poliisi n’amakomera 25 bafunye master's Degree

Abaserikale 25 aba poliisi n’amakomera abali ku madaala ag’awaggulu baakutikkirwa ddiguli ezookubiri (Masters Degrees) okuva ku yunivaasite y’e Nkumba ku matikkira gaayo aga 27 agagenda okubeerayo nga October 25, 2025. 

Abamu ku baserikale abaatikkirwa
By Ritah Mukasa
Journalists @New Vision

Abaserikale 25 aba poliisi n’amakomera abali ku madaala ag’awaggulu baakutikkirwa ddiguli ezookubiri (Masters Degrees) okuva ku yunivaasite y’e Nkumba ku matikkira gaayo aga 27 agagenda okubeerayo nga October 25, 2025.
Bano kuliko bakkamisona ne ba Senior Superintendents of Police (SSP).
Dr. Anne Abaho, omukwanaganya wa zipulogulaamu ku yunivaasite agamba nti abaserikale bataano bagenda kufuna Masters in diplomacy ne global studies ate 20 batikkirwe Masters in security and strategic studies.
Bano kuliko bakkamisona ba poliisi; David Manzi, James Kushemererwa, Polly Namaye ne Phillip Acaye. Abalala ye; Benedict Byamugisha ne kkamisona w’amakomera, May Centenary.
Abaho agamba nti amasomo gano gabangula abaserikale n’okubawa obumanyirivu n’obukodyo bwe beetaaga okusobola okukuuma obutebenkevu nga banganga okusoomoozebwa mu ngeri ennungamu. 
SSP Dr. Bosco Arop okuva ku ttendekero lya poliisi erya Police Senior Command and Staff College Bwebajja agamba nti buli mwaka poliisi eweereza abaserikale baayo abali ku madaala ga waggulu okusoma ddiguli ezookubiri. Bano bagenda ku yunivaasite eziri mu ggwanga naddala ey’e Nkumba ne Makerere. Abaserikale bano baweererwa poliisi. 
 “Kkoosi zino zitumbudde nnyo abaserikale mu ngeri gye bakolamu emirimu,” bw’agamba. 
Abaserikale abaasooka baali bataano nga bano baatikkirwa mu 2023. Kwaliko; ACP Moses Byabagye, SSP Brians Ampaire, ACP Gerald Twishimye, ACP Moses Otala Obbo ne ACP Micheal Musani. Era bonna baasuumuusibwa nga kati baweereza mu bifo ebyenjawulo okwetooloola eggwanga. Mu 2024, abaserikale 14 be baafuna Master of Arts in Security Studies and strategic studies (MSSS) nga bano kuliko; AIGP Bamunoba Ubaldo, CP James Ruhweza ne Richard Ecega. Abalala kuliko; SSP Katunda ne Lwamusayi, Chelengat Sylvia ne SSP Doreen Asiimwe. Bano baakuzibwa era bakulira ebitongole ebyenjawulo mu poliisi n’amakomera.
Abaho agamba nti kkoosi zino si z’abaserikale bokka wabula n’abantu ba bulijjo abalina ebisaanyizo basobola okuzisoma ku wiikendi. 
Wabula yunivaasite nayo egaba bbasale ku kkoosi okuli; criminal justice, security studies ne cyber security mu ngeri y’okuddiza eggwanga.