OMUWABUZI wa pulezidenti ku nsonga ez’enjawulo Phionah Barungi ayingidde mu nkaayana ze ttaka lya famire y’omugenzi Ssaalongo Ntate e Buloba , ne yeerayirira okufaafagana ne yamenye ennyumba omusula abantu nge nsonga ziri mu Kkooti.
“Bwenyingira mu nsonga nga zino okulwanirira abanyigirizibwa , bagamba ntataganya Kkooti naye osuula otya ennyumba omuli abantu ng’owulira abaana abalimu baboyaana betaaga kuyambibwa kyokka nga tewali abafaako . Eyakikoze yazizza omusango , ensonga zino ziri mu Kkooti ate namennye ennyumba nga talina kiragiro kyonna kivudde mu kkooti
Phiona ng'agonjoola enkaayana z'ettaka
Yayongeddeko nti kino ekikolwa ssi kya buntu, akola ekintu nga kino nga taafaayo ku kiddirira abeera mukyamu wabula ngenda kunoonyereza okutuusa lwe namuzuula ate mulemereko mpaka mu Kkooti kubanga kino kikwata ku bulamu bwa bantu kyovudde olaba nga nsitukiddemu .
Kiddiridde Jackie Namanda Ntate muwala w’omugenzi Ntate okuddukira mu offisi ya Barungi n’amulaajanira nti ennyumba ya kitaabwe omusula abantu yamenyeddwako ekitundu n'egwa lwa nkayana za ffamre kyokka ng’emisango giri mu mu Kkooti .Yayongeddeko nti mutowe Nakato Ntate basoose ku mugalira mu Kkomera oluvannyuma ne balumba awaka ne nga teri abatangira .
Namanda eyabadde ne looyawe Charles Oundo bagezaako okwekubira endulu kyokka tebayambibwa nga bwe bali bakona ennyumba, abaali awaka bakubira abakulira poliisi ye kitundu ne tabayamba nti ebintu byaffe byabatama . Bakubira akulira poliisi ya Wakiso eyateeeza nti abalumirirwa naye talina kyakola , atwala ekitundu kya Kawempe teyabayamba nakulira CPS kyokka bonna bagana okubaddukirira . Baguddewo omusango ku fayiro ku poliisi ya Bulooba .
Barungi yasituse n'agenda ku mu maka gano ku kyalo Bwotansimbi mu ggombolola ya Buloba mu disitulikiti ya Wakiso awali enkayana weyatuzizza olukiiko olwetabiddwanu amyuka RDC wa Wakiso Yosam Kikulwe, poliisi , balooya be njuuyi zonna na bantu abenjawulo olwagendereddwa okuzuula ekituufu ku nkayana eziri mu ffamire eno ezavuddeko okukona amaka
Namanda yanynyodde nga kitabwe bweyalina amaka ga mirundi esatu okwali e Matugga , Nsangi ne Buloba . Yayongeddeko nti eby’obugagga byagabanyizibwamu kyokka ewaabwe basigaza enkayana . Bagabanya ettaka ne nnyumba ne bagigabanyamu oludda nga lwa Nakato olulala lwa mwanyinabwe Peter Ntate , nga lwe lwakoneddwa.
Ssentebe we kitundu kino Dan Kiwanuka yategeezezza nti enkayana za ffamire eno azimanyi ne Kkooti yaletebwa ku kyalo ne basalawo ku ttaka lino
Ennyumba eyamenyeddwa
Looya wa bagabanya eby’obugagga by’omugenzi , Kimath Kiapi yalaze nti omugenzi yaleka ekiraamo n'alambika ebyobugagga bingi era buly’omu bamugabanya nga bwe kyalambikibwa ne yegana oky’okwenyigira mu kumenya ennyumba . Kiapi yasabye Barungi okuyambako ffamire eno basobole okukkanya kubanga basaasanyiza ssente nnyingi mu balooya nga bali mu Kkooti .
Peter Ntate eyabadde ne looyawe Robert Mugera yeganye oky’okumenya ennyumba eno .Looya Mugera yategeezeza nti Nakato yagalirwa ku misango omuli okusalimbira ku ttaka lya Dr. Dr. Rose Mutumba eryamuwebwa mu kiraamo kubanga mwana wa mutowe , ekirala yamenya kabuyonjo ya Peter n’okwewa obuyinza okuddukkanya ebintu by’omufu nga tabirinako buvunanyizibwa . Ekirala Nakato alina endagana eziraga nti yatunda ettaka okutudde ne nnyumba eno .
Amyuka RDC Yosam Kikulwe yasabye enjuuyi zonna okubeera abakkakamu kubanga bino bye bivaamu abantu abantu okutemagana .
Wabula Barungi yagambye nti wakwongera okunoonyereza okuzuula ekyabaddewo mu bbanga ttono , wabula bwe banamuwandikira mu butongole wakuyingira mu nsonga zabwe asobole okubatabaganya