Amawulire

Owa S4 azaalidde mu kigezo ky'akamalirizo e Koboko

Abayizi 17 be babadde embuto mu kutuula ebigezo byabwe eby’akamalirizo ebya S4. Bano kitegeerekese nti babakkirizza okutuula ebigezo.

Owa S4 azaalidde mu kigezo ky'akamalirizo e Koboko
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

Abayizi 17 be babadde embuto mu kutuula ebigezo byabwe eby’akamalirizo ebya S4. Bano kitegeerekese nti babakkirizza okutuula ebigezo.

Ku bano, ku ssomero lya Millennium High School e Koboko, omu ku bo ebisa byamukutte mu kigezo kya Chemistry 2 n’addusibwa mu ddwaliro n’azaala wabula amaanyi ne gamuggwamu kyokka nga yakomyewo olunaku olulala n’akola ekigezo.

Omwogezi wa UNEB Jennifer Kalule Musamba yagambye nti abayizi abaabadde embuto baayongeddwamu eddaakika 45 okusobola okukola ebigezo kuba abamu baabadde batawaanyizibwa.

Abalala abaabadde embuto baabadde mu bitundu okuli Pallisa, Busia ne Koboko. Yalabudde abayizi obutageza kwenyigira mu kukola ffujjo ng’ebigezo bigenda mu maaso.

Tags:
Kuzaala
Kigezo
Kamalirizo
Kukwata