EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kuwandiika abantu n’okugaba densite mu ggwanga ekya NIRA kisabye abantu abaamala okwewandiisa okugenda okuzinona ku ofiisi eziri mu disitulikiti gye beewandiisizza.
Claire Olama, omu ku bawandiisi mu NIRA yagambye nti ekitongole kyakafulumya densite ezisoba mu bukadde 5 era nga zaasindikiddwa mu buli disitulikiti nga zirinze bannyini zo okuzinonayo.
Yagambye nti densite z’ebyapa ezaafulumiziddwa ziriko ebintu ebitatera kulabika. Okugeza, ekifaananyi ky’omuntu si kyangu kyakusiimuuka, ate era waliwo n’ebintu ebyateereddwa munda ebitasobola kulabwa na maaso nga kino kyagendereddwamu okwewala abo ababadde bazijingirira ne babba abantu naddala abatunda n’okugula ettaka.
Yagambye nti era densite entuufu omuntu bw’akwata awali erinnya naye asobola okuwulira ennukuta okukakasa nti ddala ntuufu.
Yategeezezza nti ekitongole tekisobola kufulumya densite omulundi gumu kuba n’okwandiisa abantu tekwakoleddwa mulundi gumu era nga zaakufulumizibwa mu mitendera okutuusa nga bonna abeewandiisa bazifunye.