Gavumenti ng'eyita mu Kakiiko k'ebyokulonda akamanyidwa nga Electoral commission baleese obuuma obugenda okukozesebwa mu kulonda buyite Biometric Kits 60,000 era nga bwebusoose okuva mu kampuni ya Simi Valley LTD.
Justice Simon Byabakama ng'akulembeddemu banne ab'akakiiko k'ebyokulonda ku kisaawe e Ntebe
Ebyuma bino bituuse ku kisawe kye nnyonyi e Ntebe ekiro sawa 6 ku nnyonyi empangise era nga bikwasiddwa Simon Mugenyi Byabakama akulira akakiiko ke byokulonda .
Ono agambye nti obuuma buno bwamugaso nnyo kubanga bwebulina okukakasa nti okulonda kutambula bulungi ate nga bwelufu , buno bwebusoose naye nga basubirayo obulala obusoba mu 40,000 .

Akulira akakiiko k'ebyokulonda Justice Byabakama ku kisaawe e Ntebe
Ono assembyeyo nga agamba nti abagenda okukozese obuuma buno bakusomsebwa engeri yobukozesa ate ne bitundu ebitalina masanyalaze byakufuna obuuma buno nga buliko power Bank esobola okukuuma omuliro obulungi .