Owa booda agguddwako gwa kukumpanya ssente obukadde 332

OMUGOBA wa booda agguddwako gw'akukozesa ebyuma bikalimagezi nanyaga obukadde 332 n'omusobyo.

George Byaruhanga
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision

OMUGOBA wa booda agguddwako gw'akukozesa ebyuma bikalimagezi nanyaga obukadde 332 n'omusobyo.

George Byaruhanga 45 olumu nga yeeyita Ronald Kintu ate oluusi ng'akozesa erya Rogers Ainembabazi nga akola gwakuvuga booda era nga  mutuuze we Wamala mu munisipaali ye Nansana mu disitulikiti ye Wakiso yeyasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road Ronald Kayizzi eyabasomedde emisango 6 nga gyekuusa ku bunyazi bwa ssente.

Kigambibwa nti mu mwezi gwa February 2025 ku kizimbe kya Mapeera mu Kampala Byaruhanga mu bugenderevu yaggya ssente ku akawuntu eri mu mannya ga Ronald Kintu ezisoba mu bukadde 332 naziteeka ku akawuntu eri mu mannya ga Rogers Ainembabazi nga akazisa ebyuma bikalimagezi.

Omusango omulala ogwamugguddwako kigambibwa nti ono yeeyita kyatali bweyagingirira endaga muntu eyali mu mannya ga Kintu kyokka nga akimanyi bulungi si gemannya ge amatuufu 

Yaguddwako emisango emirala okuli okugingirira ebiwandiiko wamu nokuwaayo ebiwandiiko ebikya mu bbanka nekigendererwa ekyokunyaga ssente mu bbanka nga azizzs mu Exim bank.

Emisango gyonna yagyegaanye wabula omuwabi wa gavumenti Grace Amy yategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku misango gino bwekukyagenda mu maaso n'asaba kkooti okubawayo obudde lwebanadde okutegeera kkooti webanaaba batuuse.

Omulamuzi yamutegezezza nga bwalina eddembe okusaba okweyimirirwa wabula yamutegezezza nga abantu be bwebatali kumpi nti kuba nokukwati a abadde takimanyi nti bamutwala mu kkooti,wano weyasabidde omulamuzi okumuyamba amuweyo ekiseera ekitali kyawala basobole okumukomyawo asabe okweyimirirwa.

Omusango gwayongezeddwayo okutuusa nga November 12,2025 lwegugenda okuddamu kuwulirwa wamu ne Byaruhanga okusaba okweyimirirwa.