Agambibwa okufera obukadde 25 ez'okutambuza eby'amaguzi asuze Luzira

AGAMBIBWA okukumpanya ez'okutambuza eby'amaguzi okuva e Mombasa okubituusa e Kampala kkooti emusindise Luzira.

Richard Ntabazi ng'ali mu kaguli ka kkooti
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision

AGAMBIBWA okukumpanya ez'okutambuza eby'amaguzi okuva e Mombasa okubituusa e Kampala kkooti emusindise Luzira.

Richard Ntabazi, ng’akola gwa okutuusa byamaguzi omutuuze ku kyalo Kitebi mu diviizoni y’e Rubaga mu disitulikiti y’e Kampala y’asimbiddwa  mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi eyamusomedde omusango gw’obufere n’agwegaana.

Richard Ntabazi Efayera Ez'okukusa Eby'amaguzi Mu Kaguli Ka Kkooti.

Richard Ntabazi Efayera Ez'okukusa Eby'amaguzi Mu Kaguli Ka Kkooti.

Kigambibwa nti nga January 6, 2025 mu City Center mu Kampala n'ekigenderwa eky'obufere Ntabazi yafuna ssente ezisoba mu bukadde 25 okuva ku Daniel Hirwa nga yali agenda kumutambuliza eby’amaguzi bye okuva e Mombasa okubituusa e Kampala ky’ataakola.

Ono mu kubuuzibwa oba nga ddala yakikola yategeezezza kkooti nga ssente bwe yazifuna wabula nga obukadde 13 zaali zaakusasula byamaguzi we byali birina okuyita era nti yabadde agguddewo omusango ku bantu be yali yawa ssente ez’okumuyambako.

Omulamuzi Kayizzi ono yamusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga February 19, lw

Anaddizibwa mu kkooti okusaba okweyimirirwa n'okumanya okunoonyereza omusango we gunaaba gutuuse.