EBY’OMUWALA eyafiiridde ew’omuli wa ssente, Bryan White biwanvuye, poliisi bw’eyazizza amaka ge n’esangamu amasabo n’ebintu ebizibu by’okunnyonnyola.
Mu kiseera kye kimu, bazadde b’omuwala eyafudde balayidde okulemera ku nsonga okutuusa nga bazudde kituufu ekyasse omwana waabwe.
Poliisi okwaza amaka ga Bryan White ng’amannya amatuufu ye Bryan Kirumira, agasangibwa ku Salaama Road mu ggombolola y’e Makindye mu Kampala,m kyaddiridde omuwala Caroline Nalubwama, 25 okugafiiramu.
Enfa ye na kati aba famire bakyagyemulugunyaako nga bye bimu ku bikulu poliisi
by’ekyanoonyerezaako.
Ensonda zigamba nti omuwala oyo eyasangiddwa ng’omulambo gwe guliko ebiwundu, abamu bagamba nti byavudde ku kapipa ka ggaasi akaatulise omulundi gumu omuliro ne gwokya abaabaddewo n’ebyabaddewo.
Zigattako nti, waliwo eyakoleezezza omusubbaawa ng’amasannyalaze gavuddeko nga tategedde nti, akapipa ka ggaasi kasumulule.
Ggaasi oyo nga y’omu ku bye baabadde bakozesa mu kufumba eby’awaka, yabadde teyasibiddwa bulungi ng’ayisa nga bw’olaba omupiira gw’eggaali oguyisa omukka. Nti bwe yakoleezezza, akapipa, kaakutte lumu omuliro.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti, ebyakazuulwa biraga nti omugenzi yabadde akoleezezza omusubbaawa ogwavuddeko omuliro.
Agattako nti omusubbaawa guno gwakoleezeddwa misana era yafiiridde mu ddwaaliro e
Kiruddu.
Ekyewuunyisa, Onyango agamba nti omuliro guno gwakutte misana era Nalubwama yafudde yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Kiruddu ku ssaawa 8:00 ez’emisana ku Mmande.
Wano ekimu ku bikyanoonyerezebwako y’engeri omusubbaawa gye gwakoleezeddwa emisana.
Okuggyako ng’ekisenge kyabadde kijjudde enzikiza, naye ate era ggaasi afumbisibwa atera kubeera mu ffumbiro era nga kizibu okuba mu kisenge ekikwata enzikiza emisana.
Mu ngeri y’emu waliwo ebyogerwa nti sitaatimenti ezaasoose okukolebwa zaabadde zikontana ku budde akabenje we kaagwiriddewo ng’abamu bagamba kawungeezi atem abalala nga bagamba mu ttuntu.
Kyokka waliwo abagamba nti omugenzi yabadde akutte amafuta ga peetulooli, bwe yakumye akati k’ekibiriiti, teyajjukidde nti agalina ne gakwata omuliro.
Poliisi egamba nti omulambo gwa Nalubwama gulina ebiwundu ku mubiri okuva ku mutwe mu ffeesi okudda ku magulu era byababuse.
Kyokka taata wa Nalubwama, Ssaalongo Tom Mutyaba agamba nti omubiri gwe ne ffeesibyabadde n’ebiwundu ate ng’avaamu omusaayi mu nnyindo.
Omulambo gwa Nalubwama eggulo gwaggyiddwa e Kiruddu ne gutwalibwa e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Oluvannyuma baaguwadde abazadde ate abaagututte ewa Bryan White ataabaddeyo nga bagamba nti alina okubakolera ku kuziika kubanga y’avunaanyizibwa ku kufa kwa muwala waabwe era y’abadde abeera naye.
Ssaalongo Mutyaba ow’e Kitende yagambye nti muwala we eyali nkubakyeyo mu Buwalabu, bwe yakomawo yabakana ne Bryan White eyamuganza. Agattako nti n’okufa era yabadde mu maka ga Bryan. Nti ne mu kadde ako, Bryan awaka yabaddewo nti naye yafunye ebiwundu.
Mutyaba eyabadde ne mukyala we, Regina Nakkazi era maama w’omugenzi, yaweze nga bwe batajja kusirisa okutuusa nga bategedde enfa y’omwana waabwe entuufu.
Amyuka omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Luke Omulipoliisi yazzeeyo mu maka ga Bryan White okwekebejja byonna bwe yabadde, gye yasanze obuyumba obw’essubi n’obwamabaati mu luggya. Obw’essubi bwabadde bwetooloozeddwa ebitoogo ebyasimbibwa nga bijimu bulungi. Mu kibangirizi ky’obuyumba obwom waabaddewo obulala kyokka nga bwo bwazimbibwa mu ngeri ya kuserekebwa naye ng’ebirimu obiraba kubanga bwabadde bwazimbibwa mu ngeri ya weema.
Mwabaddemu kalonda w’ebintu eby’enjawulo ebyabadde bitegeerekeka n’ebizibu
by’okunnyonnyola. Ebirala, mwabaddemu ssigiri ezaayokebwako obuntu obulinga obugulu bwazo kyokka nga bwakolebwa mu ngeri ya kasaalaba.Owoyesigyire yagambye nti Bryan White yakoze sitatimenti ku byabaddewo wadde nga naye akyali ku bujjanjabi olw’ebiwundu bye yafunye. Yagasseeko nti bagenda kukebera kkamera z’awaka bye zaakutte ng’ebyo bigenda mu maaso bazuule ekituufu.
POLIISI EYOGEDDE
ABAWALA ABALALA B’ESANZE EWA BRYAN WHITE
Mu kufeffetta amaka, poliisi yakutte n’abawala abalala babiri be yasanze mu maka ago.
Akulira poliisi y’e Katwe, Innocent Mubangizi yategeezezza nti baabatutte babayambeko okutegeeza ebyabaddewo bwe byatandise ne bwe byawedde.
Kyokka awaka era waabaddewo omukyala eyayogeddwaako nti, ye yabadde mukyala wa Bryan White omukulu naye ye teyamukutteko.
BRYAN WHITE BY’AZZE AYITAMU
Omuli wa ssente ono tewali yamanya gye yafubutuka mu 2016 bwe yeggunda ku Bannayuganda abaamwekanga ng’alina ebisawo n’ebisawo bya ssente. Yakola ekibiina kya Bryan White Foundation mwe yayitanga okugabira abantu ssente naddala abavubuka be yakolangamu omulimu bave ku biragalalagala. Yakunga abayimbi b’amannya okwali Jose Chameleone, Weasel, Big Eye, King Micheal ne bannaabwe be yakozesanga okusikiriza abavubuka okukung’aana olwo ye n’abakuba enjiri y’okweyisa obulungi oluvannyuma n’abawa ssente z’entandikwa. Ng’omuyimbi Moze Radio eyali owa Good Lyfe afudde mu 2018, Bryan White yagenda mu maka ga nnyina, Jane Kasuba e Kagga –Nakawuka n’amusaba amukkirize azimbe entaana ye era n’akikola kwe yagatta okumaliriza ennyumba ya nnyina omuyimbi oyo gye yafa tamalirizza.
Abaabuuzanga gye yaggya ssente z’amansa ng’abaddamu bwe yalina maama we e Yitale gye yava era nga ye yazimuwa.
Kyokka mu 2021, Bryan White yaggulwako emisango akakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu aka ‘Human Rights Committee of Parliament’ ne kalagira asibwe ku misango gy’okukabassanya abawala kyokka nga ye agamba nti, alina abamuwalana abamusibako kalebule oyo. Abamu ku bawala abaali boogerwako kwaliko; Stella
Nandawula, Vivian Mutanda, Leticia Nabulime. Mu budde obwo, kyali kigambibwa nti mu kukolagana nabo mu kibiina kye yatondawo, waliwo ebitaagenda bulungi wakati we nabo.