Putin awadde Museveni ebyokulwanyisa

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin awadde Pulezidenti Museveni eby’okulwanyisa ebibalirirwamu obukadde bwa  doola 53, nga mu za Uganda bwe buwumbi 184 n’ekitundu.

Ebyokulwanyisa Russia bye yawadde Uganda nga babikwasa Pulezidenti Museveni (ataddeko enkuu ira).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin awadde Pulezidenti Museveni eby’okulwanyisa ebibalirirwamu obukadde bwa  doola 53, nga mu za Uganda bwe buwumbi 184 n’ekitundu.
Ebyokulwanyisa bino bigendereddwaamu okuyamba amagye ga UPDF okwenyweza, okusobola okwang’anga omulabe yenna abeera alumbye eggwanga.
Pulezidenti Museveni yatenderezza Russia olw’enkolagana gy’erina n’olukalu lwa Africa, okuviira ddala mu ntalo z’okwegobako abafuzi b’amatwale n’okuyamba amawanga ga Africa okwetengerera n’okwenyweza mu bintu eby’enjawulo, okusukka ku byokwerinda.

Mu byokulwanyisa Uganda bye yafunye, mulimu ebyuma ebiggya emisanvu mu kkubo okusobozesa amagye okutambula obulungi, ebyuma ebisima emikutu amagye mwe geekweka mu ntalo, amaato amalwanyi, ekifo we bakanikira mmotoka n’ebyuma by’ekijaasi, leediyo eyamba amaato amalwanyi okuwuliziganya n’abali ku lukalu, n’ebirala. Museveni yeebazizza Putin olw’ebyokulwanyisa bino, n’agamba byonna bya mugaso era biyamba okugonza emirimu gy’ekijaasi.

Enkolaganaya Uganda ne Russia, Museveni yagambye nti egenda kweyongera amaanyi olw’ekikolwa kino.
Museveni yannyonnyodde nti omwaka 1900 we gwatuukira, ekitundu kya Africa
kyonna kyali kifugibwa bafuzi b’amatwale okuggyako Ethiopia yokka.

Ensi yonna mu kiseera ekyo tewali yali ayogerera ku Africa wadde okugiyamba okuva mu kufugibwa obumbula, okuggyako abaddugavu abaali mu America.

Wabula Russia bwe yeerwanako n’efuna obukulembeze obupya mu 1917, ne China n’efuna obukulembeze obupya mu 1949, baatandika okuyamba amawanga ga Africa, Asia ne Latin America okwerwanako, okuyita mu kubawa ebyokulwanyisa, n’okubakyusa endowooza.

Ye mjinisita w’Ebyokwerinda, Jacob Oboth Oboth yasiimye Pulezidenti Museveni olw’okusoosowazanga ebyokwerinda, nga empagi  ey’amaanyi mu nkulaakulana y’eggwanga. Ate Lt. Gen. Kayanja Muhanga, eyakiikiridde omuduumizi w’amagye, Gen. Kainerugaba Muhoozi, yagambye nti obuyambi Russia bwe yawadde UPDF, bulaga okulafuubana kw’eriko, okulaba ng’ensi yonna ebeera mu mirembe.

Omubaka wa Russia mu Uganda, H.E Vladlen Semivolos yagambye ntu omukwano
gwa Uganda ne Russia gwamaanyi era gwesigamiziddwa ku kwesigang’ana, obutayingirira nsonga za munda mu ggwanga, era Russia y’emu ku nsi ezaasooka okukakasa obwetwaze bwa Uganda