Akabenje katuze taata, maama ne bbebi waabwe

ABANTU basatu aba ffamire emu okuli taata, maama ne bbebi waabwe ow’emyezi 2 bafi iridde mu kabenje, mmotoka mwe babadde batambulira bw’etomeraganye ne bbaasi.

Musa Nyago
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU basatu aba ffamire emu okuli taata, maama ne bbebi waabwe ow’emyezi 2 bafi iridde mu kabenje, mmotoka mwe babadde batambulira bw’etomeraganye ne bbaasi.
Abafudde kuliko; Musa Nyago, mukazi we, Swabura Nakanyike n’omwana waabwe, Fazil Kintu owa wiiki ebbiri.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti akabenje
kaaguddewo ku ssaawa 2:30 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokusatu mu Binyonyi Zone mu
Luweero okumpi ne minzaani epima ebidduka ku luguudo oluva e Kampala
okudda e Gulu.
Bbaasi ya kkampuni ya ECO Yutong No. SSD 251Z, eyabadde eva e Gulu okudda e Kampala ye yavuddeko embeteza bwe yayisizza mmotoka ssatu n’esanga kanta y’amafuta No. UAV 920Q gye yayambalaganye nayo bwenyi ku bwenyi.
Kanta yagoyeddwa n’abaagibaddemu sso nga bbaasi yagudde mu lukonko abaagibaddemu
abawera 19 ne batwalibwa mu ddwaaliro e Kasana nga bafunye bisago, kyokka ddereeva
waayo yavuddemu n’adduka.
Poliisi yaggyeewo emirambo n’egitwala mu ggwanika e Kasana n’ebidduka n’ebyolekeza ku poliisi byekebejjebwe