VICTORIA University etikkidde abayizi 2,500 mu masomo ag’enjawulo ku mukolo kwe bajjuukiridde omu ku baali badayirekita baayo omugenzi Rajiv Ruparelia nga yali mutabani wa nnaggagga Sudhir Ruparelia.

Victoria University
Amatikkira gano geetabiddwaako Kyabazinga, William Wilberforce Nadiope Gabula IV, Dr. Sudhir yennyini ne mukyala we Joystna Ruparelia abatandisi ba yunivasite eno n’ebikonge ebirala mu ggwanga okwabadde ne cansala waayo Polof. John Opuda-Asibo, Dr. Lawrence Muganga agikulira n’abalala.

Victoria University
Mu ngeri ey’enjawulo Dr. Sudhir Ruparelia yasinzidde ku mukolo guno n’alangirira nga ye ne mukyala we Joysna Ruparelia bwe baawaddeyo sikaala 100, eri abayizi abaatikkiddwa nga bakoze bulungi bafune omukisa okusoma diguli eyookubiri nga tebalina kye basasudde.

Victoria University
“Ffe nga bazadde ba Rajiv tuwaddeyo sikaala zino nga tujjukira ebirungi mutabani waffe bye yakolera yunivasite eno okuviira ddala ng’etandika tukuume omukululo gwe yalafuubanira mu kutumbula ebyenjigiriza by’omwana wa Uganda” Sudhir bwe yategeezezza.
Rajiv yali mutabani wa Sudhir nga yafiira mu kabenje nga May 3, 2025 ku nkulungo y’e Munyonyo. Gano ne matikkira ga Victoria University, ag’omulundi ogwomwenda ng’abayizi 2,500 baatikiddwa diguli, dipulooma ne satifikeeti ku mukolo ogwabadde ku Speke Resort Convention Centre e Munyonyo.

Dr Sudhir nnannyini Victoria University
Kyabazinga, eyabadde omugenyi omukulu yakulisizza abatikkiddwa n’abasaba okweyongera okusoma bafune bakuguke mu bintu eby’enjawulo.
Dr. Muganga yawadde abaatikiddwa n’abatannatikkirwa amagezi okwettanira tekinologiya kibayambe okusigala nga ba mugaso mu nsi ebbanga lyonna.

Victoria University
Yunivasite eno etambulira ku mulamwa gw’obuyiiya n’obukugu bye bawa abayizi be basomesa okulaba nga basobola okwang’anga ensi eno wakati mu kuvuganya okugenda okutondebwawo tekinologiya ow’ekikugu owa ‘AI’ okuviira ddala lwe bagitandikawo mu 2013.

Prof. Muganga ng'ayogera
Dr. Muganga yasabye abasomesa n’abayizi okutambulira ku mazima agakwatagana n’ensi gy’eraga nga batambula ne tekinologiya. “Njagala okubabuuza mmwe abasomesa mu yunivasite ez’enjawulo, abakyagaanyi okwettanira tekinologiya n’obuyiiya, abaana baffe mubasomesa bikwata ku mirimu egigenda okuggwaawo enkya oba?” Dr. Muganga bwe yabuuzizza.

Victoria University