EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kikutte abayizi ba siniya 8 ne baggalirwa olw’okusangibwa nga bapangisiddwa okutuula ebigezo bya PLE ebitandika ku Mmande nga November 3, 2025.
Akulira UNEB, Daniel Odongo yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire eggulo n’ategeeza nti, abaakwatiddwa bayizi ku Salama Education Center mu disitulikiti y’e Kagadi ne Kitara SS erisangibwa mu Hoima.
Aba Salama baabadde baawandiisibwa okutuulira ku Salama Junior School ate aba Kitara nga baakutuulira ku Kasasa P/S.
Abayizi abaakwatiddwa basoma S.3, S.5 ne S.6 era mu kiseera kino bakuumirwa ku poliisi y’e Hoima ne Kagadi. Waliwo bannaabwe abalala 12 abadduse era banoonyezebwa.
“Twafunye abantu abatubagulizaako era ne tulagira abeebyokwerinda babakwate era twagala batuyambe mu kunoonyereza,” Odongo bwe yagambye.
Yagasseeko nti, abakulira amasomero okupangisa aba siniya baayagadde kuyisa bulungi bayizi PLE. Yalabudde abantu okwewala okwenyigira mu by’okukoppa kuba anaakwatibwa, waakuvunaanibwa.
Omwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule yagambye nti, abayizi 817,930 be beewandiisa okutuula PLE era enkya ku Lwokutaano lwe baakulung’amizibwa ku mateeka ge banaagoberera nga bakola Mmande n’enkeera ku Lwokubiri.