Museveni agambye nti gavumenti ya Kenya eteekeddwa okusasulira ebikolobero by’okutta Bannayuganda e Karamoja.

PULEZIDENTI Museveni agambye nti gavumenti ya Kenya eteekeddwa okusasulira ebikolobero by’okutta Bannayuganda ebyakolebwa Bannakenya e Karamoja. 

Museveni agambye nti gavumenti ya Kenya eteekeddwa okusasulira ebikolobero by’okutta Bannayuganda e Karamoja.
By Jaliat Namuwaya
Journalists @New Vision
#Amudat #Museveni #Pulezidenti #Muzeeyi #Kalulu #2026

PULEZIDENTI Museveni agambye nti gavumenti ya Kenya eteekeddwa okusasulira ebikolobero by’okutta Bannayuganda ebyakolebwa Bannakenya e Karamoja.

 

Yategeezezza nti yali yakkiriza aba Tulukana okuva e Kenya okulundira kuno naye yawalirizibwa okubawera obutaddamu kulundira mu Uganda bwe batta abapunta b’ettaka 3 okuva mu ministule y’amasannyalaze n’ebyobugagga eby’omu ttaka abaali basindikiddwaayo okunoonyereza ku by’obugagga eby’omu ttaka mu March 2022.

 

Yakakasizza Abakaramoja nti amangu ddala ng’okulonda kuwedde omwaka ogujja, pulezidenti w’e Kenya, Dr. William Ruto ajja kujja kuno bagende naye e Karamoja akole emikolo egy’okusasulira Bannayuganda abantu be, be batta ng’emikolo gino gijja kukolebwa mu ngeri y’obuwangwa era gyakwetabwako bannabyabufuzi, abakulembeze b’e Karamoja ab’ennono, bannadiini n’abantu abaabulijjo.

 

Gen. Museveni okwogera bino yasinzidde mu kukuba kkampeyini mu disitulikiti ya Amudat ng’abawagizi be bakung’aanidde mu bungi ku kisaawe ky’essomero lya pulayimale erya Kalasi Girls okumuwuliriza.


Yannyonnyodde nti yakola kinene nnyo okuzza emirembe mu bitundu by’e Karamoja bwe yasobola okubaggyako emmundu ezaali zibasindiikiriza okulwanagana.

 

Karamoja kye kimu ku bitundu mu ggwanga ebitawaanyizibwa ebbula ly’amazzi nga wano pulezidenti yagambye nti balina enteekateeka engazi gye bali mu kukolako mwe bagenda okutuusiza amazzi ku bitundu eby’omu byalo.

 

Yalambuludde nti mu nteekateeka eno baagala batuuse amazzi mu maka g’abantu kinnoomu abaliko bye beenyigiddemu ebyamaanyi gamba ng’abalunzi n’abalimi gabayambengako mu kufukirira ebirime byabwe wamu n’okunywesa ente zaabwe.

 

Yakubirizza abantu mu Amudat okwerwanako okugoba obwavu nga bayita mu kwenyigira mu nteekateka za gavumenti ez’enjawulo ez’okwekulaakulanya.

 

Ku Mmande, Pulezidenti Museveni yalambudde ekkolero lya seminti erisinga obunene eriri mukuzimbibwa mu bitundu by’e Karamoja n’ayongera okuwa bannansi essuubi naddala abavubuka ku nsonga y’emirimu n’enkulaakulana y’eggwanga.

 

Ekkolero lino liyitibwa Yaobai International Holding Cement Uganda–SMC, ng’okusinziira ku pulezidenti okututumuka kw’amakolero kwa kuyambako okumalawo ebbula ly’emirimu.