Bya Zulaika Iqra Nakato 
 
Abakugu mu by'Enjigiriza okuva ku Yunivasite y'e Makerere basonze ku  biteekwa okussibwako essira okukendeeza  ebbula ly'emirimo mu bavubuka abasomye ko n'ebibamba mu Nsi yonna.
 
Bannabyanjigiriza e Makerere nga bakulembeddwamu Amyuka Chansala wa Yunisite y'e Makerere Pulof.Barnabas Nawangwe,bagamba nti e Ggwanga okugenda mu maaso eby'okunoonyereza biteekwa okusosowazibwa okulabanga Yunivasite zifulumya abakozi abalina obukugu obwo bwennyini obwetaagisa ku mirimo.
 
Pulof.Nawangwe asinzidde ku mukolo Makerere kweteeredde b
 emikono ku ndagaano n'abaddukanya University of the West England esangibwa e Bungereza mu kawefube w'okutumbula eby'okunoonyereza n'ategeeza nti okunoonyereza bwekussibwaki essira kiyamba n'okulinnyisa omutindo gw'abo abatikkirwa okuva mu Yunivasite ne basobola okukola ku bizibu ebitali bimu ekibanguyiza n'okufuna emirimo.

Polof. Nuwangwe ng'ali n'abakungu abalala
Wano Pulof.Nawangwe yebazizza aba Universty of the West England olw'enkwatagana eno gyebatandise ne Makerere n'ategeeza nti omukago guno,gwakuyamba abayizi b'e Makerere okumanya butya ebintu bwebikolebwa e Bulaaya ekibayamba okugaziya ku kumanya kwabwe.
 
Pulof.Nawange ategeezezza nti amasomo agasiddwako essira kuliko;Eby'okunoonyereza ku Mbeera y'Obudde,okutaasa Obutonde bw'Ensi,okukuuma ebisolo byo mu Nsiko n'ebirala okulabanga Ensi efuna abakugu bonna abetaagisa okukola ku nsonga ezisomooza abantu mu mbeera mwebawangaalira.
 
Bo abakungu okuva mu Universty of the West England nga bakulembeddwamu Amyuka Vice Chansala,Jo Midley,beyamye nti mu mukago guno,baakuyambako n'abasomesa ku Yunivasite y'e Makerere okwongera okubangulwa mu by'okunoonyereza kibasobozese okusomesa abayizi baabwe mu nsomesa ebawa enkizo okuvuganya ku katale k'emirimo mu Nsi yonna.