Omubaka wa Paapa ey'awummula Augustine Kasujja asabye abazadde okukuliza abaana mu Katonda

OMUBAKA wa Paapa eyawummula Ssaabasumba Augustine Kasujja akalaatidde abazadde okunywereza abaana mu kristo bakule nga balimu ensa naddala mu luwummula   

Kasujja ng'awa omwana omukisa
By Godfrey Ssempijja
Journalists @New Vision

OMUBAKA wa Paapa eyawummula Ssaabasumba Augustine Kasujja akalaatidde abazadde okunywereza abaana mu kristo bakule nga balimu ensa naddala mu luwummula

Ono asabye abantu bonna okutambulira mu kkubo lyabo abatukirivu abali mugulu kubanga kyali kyakulabirako kirungi naye n'akuutira abakubi be bifananyi okukoma okutawanya abaana bano nga batekebwako emitono.

Augustine Kasujja

Augustine Kasujja

Assembyeyo nga akuutira abaana bano okwagala abantu ba katonda kwosa n'okutambulira mu bitino bya Yezu Christ wamu n'okubera ekyokulabirako oluvannyuma lw'okufuna kofulimansiyo ne wukalisitiya .

Ssabasumba abadde ku kyalo Kikaya- Buwaya mu Town council ye Kasanje wabadde ateekako abayizi 23 emikono wamu ne Katekisimu  asooka  12 ku kifo webakuumira abaana abaliko obulemu ekimanyibwa nga  Butterfly special needs.

Kasujja ng'ayimmba mmisa

Kasujja ng'ayimmba mmisa

Tonny Bwanika ng'ono yegayiridde abazadde obutagalira baana baliko bulemu mu mayumba nokubekaanya wabula nti beyambise abantu nga bano okukyuusa obulamu bwabaana bano.

Ono asabye abazadde okulabirira obulungi ennyo abaana nga bali muluwumula kwosa nokubawerera basobole okusoma kubanga bamugaso nnyo mumaaso.