Amawulire

Abagambibwa okutigomya Kampala 38 bakwatiddwa

ABAGAMBIBWA  okuba abamenyi b'amateeka 38, bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu Kampala wakati n'e Mukono.

Abagambibwa okutigomya Kampala 38 bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABAGAMBIBWA  okuba abamenyi b'amateeka 38, bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu Kampala wakati n'e Mukono.

Ebikwekweto bino, mu Kampala, bikoleddwa ku William Street , Kinnamwandu, Nakasero ne Old Kampala ate ng'e Mukono, biyindidde Bajjo,  ne Seeta.

E Mukono 21 bayooleddwa n'ebyuma ebigambibwa okweyambisibwa mu kumenya amayumba wamu n'enjaga.

17 , bakuumirwa ku CPS mu Kampala , nga kigambibwa nti baludde nga batigomya abasuubuzi n'abasaabaze mu ppaaka ne mu butale.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti okubasunsulamu, kugenda mu maaso