Amawulire

Omusajja agambibwa okukuma omuliro mu bantu ng'asiga ebigambo by'obukyayi, asindikiddwa ku alimanda

Omusajja agambibwa okukuma omuliro mu bantu ng'asiga ebigambo by'obukyayi, asindikiddwa ku alimanda

Hakim Wamala eyakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omusajja agambibwa okukuma omuliro mu bantu ng'asiga ebigambo by'obukyayi, asindikiddwa ku alimanda. 

Hakim Wamala 41 omutuuze w'e Kalagi mu Ggombolola y'e Kyampisi e Mukono, ye yasimbiddwa mu kkooti y'omulamuzi e Nakifuma n'avunaanibwa okukozesa obubi komputa n'okweyambisa ebigambo ebiyinza okuleeta obutali butebenkevu. 

Kigambibwa nti Wamala nga yeyambisa omukutu gwa TikTok nga Nov 09 ng'ayitira ku akawunta ye @hakiqualitypropertyandconstruction, yakwata akatambi omuli ebigambo ebyobusagwa n'akasaasaanya. 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesyigire, agambye nti mwalimu okutegeeza ng'omu ku beesimbye ku ntebe y'obukulembeze, Robert Kyagulanyi nti obulamu bwe buli mu matigga n'ebirala