WABADDEWO akasattiro abakuumi b'omujaasi omu mu kibuga ky'e Kayunga, bwe bakubye amasasi mu bbanga , nga batangira ab'ekitongole ky'amasannyalaze ekubasalako.
Akavuyo kano , akatwaliddemu ne manegya wa UEDCL e Kayunga Phionah Mbabazi, kabadde ku kizimbe ekiri okumpi n'eddwaaliro ekkulu e Kayunga ,eggulo akawungeezi.
Kigambibwa nti aba UEDCL babadde bali mu bikwekweto , by'okufuuza abo bonna abakozesa amasannyalaze mu bukyamu nti kyokka babadde bagezaako okusalako amasannyalaze okuva ku kizimbe ky'omu ku Majar General, abakuumi be ne batabuka.
Kigambibwa nti , abamu ku bakozi b'ekitongole kino, bakubiddwa n'okubawambako amasimu era ensonga ne zitwalibwa ku poliisi e Kayunga ng'okubuuliriza…
[09:46, 11/19/2025] KIGOBERO: Akulira poliisi mu Kampala n'emiriraano CP Richard Achegu , yakubye olukungaana e Kyengera, n'asaba abantu okwongera okukuuma emirembe n'okuloopa abantu n'ebintu bye bateekakasa.
Lwetabiddwako abasuubuzi, abatuuze, abakulembeze, Bannaddiini, abasirikale mu kitundu kya KMP South n'abantu abalala bangi.
Kidiridde abantu mu kitundu ekyo, okubeera ku bunkeenke gyebuvuddeko, olwabebijambiya abaludde nga babatigomya.