OMUWENDO gw’abantu abafiira mu bubenje bwa bodaboda ogulinnya buli olukya gweraliikirizza abakwasisa amateeka g’ebidduka ne balabula aba bodaboda okugoberera
amateeka g’oku nguudo n’okwewala okuvigisa ekimama ku nguudo.
Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa poliisi omwaka oguwedde, abantu 1,720 be baafiira mu bubenje bwa bodaboda ekintu dayirekita wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga ky’agamba nti kibeeraliikiriza.
Nuwabiine bwe yabadde ayogerako eri aba bodaboda abeetabye mu musomo ogwabategekeddwa aba Kkampuni ya Uganda Breweries mu kaweefube w’okubayamba
okwetangira obubenje ku nguudo, yabalabudde okwewala okuvuga endiima n’okunywa omwenge nga bali ku nguudo ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga n’okwongera obubenje.
Nuwabiine yategeezezza nti enfunda nnyingi aba booda abamu tebafaayo kwambala Herementi n’obukooti obumasamasa nga ne pikipiki zaabwe tebazikanika ekibateeka mu bulabe n’asiima aba Uganda Breweries olw’omusomo gwe baategekedde aba booda n’asaba ne bannakyewa abalala okubakwasizaako mu kaweefube w’okulwanyisa obubenje ku nguudo. Aba booda abaatendekeddwa, baawereddwa herementi ne
n’obujaketi obumasamasa era akulira Uganda Breweries, Andrew Kironzo mu bubaka bwe obwamusomeddwa omukungu Anthony Alozie yakuutidde aba bodaboda okusomesa bannaabwe obukulu bw’okussa ekitiibwa mu mateeka g’oku nguudo.